Mwana Muwala Winnie Nwagi afuukudde abadigize wakati mu kuyingira omwaka omuggya ogwa 2021 bw’alinnye ku siteegi nga yeesaze akambalo akawalirizza abadigize okuyiika amalusu ssaako n’okkuba obufaananyi ate ng’abalala bagamba kimu nti mubutuufu Nwagi yamala yo, alina ebintu.

Nwagi yabadde mu kivvulu ekyabadde ku Ttiivi zonna mu ggwanga okuva e Naguru mu ngeri y’okulaga nti bali bumu nga tuyingira omwaka ogwa 2021.

Bwe yalinye ku siteegi, olw’engeri gye yabadde ayambadde, omusasi waffe yabadde aliko ebbaala gye yabaddemu era abamu ku badigize ne bakuba enduulu nti “ekyana kikyo”

Nwagi mu ngeri y’okulaga nti ddala ategeera kye bayita omuziki, yakunamidde abadigize mu maka gaabwe ssaako ne bannamawulire obwedda abakutte kamera, enduulu nesanikira ekifo kyonna.

Vidiyo ku Instagram

View this post on Instagram

A post shared by WINNIE NWAGI (@winnienwagi)