Kyaddaki Ssalongo Erias Lukwago azzeemu okulondebwa ku bwa Loodi meeya bwa Kampala ekisanja eky’okusatu mu kalulu akakubiddwa, olunnaku olw’eggulo.
Okusinzira ku birangiriddwa akulira eby’okulonda mu Kampala Barbra Mulimira, Lukwago munnakibiina kya FDC afunye obululu 194,592 ate munnakibiina kya NUP Nagayi Nabirah Ssempala amalidde mu kyakubiri n’obululu 60,082.
Munna NRM Danniel Kazibwe amanyikiddwa nga Ragga Dee akutte Kyakusatu n’obululu 23,388 ate Joseph Mayanja amanyikiddwa Dr. Jose Chameleone amalidde mu Kyakuna n’obululu 12,212.
Ate munna DP Charles James Ssenkubuge akutte kyakutaano n’obululu 2,355, Yakub Mayanja Musaazi myaka 23 munnakibiina kya Alliance for National Transformation (ANT) 478 ate abesimbyewo nga bayindipendenti okuli Innocent Kawooya 762, Eddie Bazira Kibalama 490, Ben Lule 325, Micheal Evans Mugabi myaka 24, afunye obululu 522 ate Isaac Sendagire 386.
Lukwago, mu kwogerako eri bannamawulire ku kisaawe kye Kololo oluvanyuma lw’okulangirirwa, asuubiza okwongera amaanyi mu kulwanirira ensonga ezinyigiriza abasuubuzi.