Kkooti enkulu mu Kampala erangiridde nga 6, omwezi ogujja Ogwokuna okuwa ensala yaayo ku musango Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) gwe yatwalayo ng’awakanya ekitongole ekisolooza omusolo mu ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) okuddamu okwekebejja emmotoka era kino kiraga amaanyi ga Gavumenti kiyite Gumenti Power, (Gov’t Power)
Kyagulanyi oluvanyuma lw’okuvaayo okutegeeza nti abawagizi be, bamugulidde emmotoka etayitamu masasi, ekitongole ky’omusolo, kigamba nti kirina okuddamu okugyekeneenya.
Wabula Kyagulanyi sabiiti ewedde yaddukira mu kkooti ng’awakanya eky’okuddamu okutwala emmotoka ye okugyekeneenya.
Mu kkooti akawungeezi ka leero, Omulamuzi Emmanuel Baguma alagidde enjuyi zonna okuteekayo okwewozaako kwazo, oluvanyuma wa kuwa ensala ye 6, omwezi ogujja Ogwokuna.
Omulamuzi okwongezaayo omusango, kidiridde bannamateeka b’ekitongole ekisolooza omusolo okusaba ennaku 30 okusobola okuddamu okusaba kwa Kyagulanyi, mwawakanyiza okusika emmotoka ku mpaka, okugitwala okugyekebejja.
Kyagulanyi abadde akikiriddwa bannamateeka be nga bakulembeddwamu Godfrey Turyamusiima era omu ku bannamateeka ba National Unity Platform era agamba nti omuntu we Kyagulanyi yakkiriza okuddamu okwekebejja emmotoka ye n’okuwa emisolo gyonna kyokka okwekebejja emmotoka ye, balina okukikola mu ngeri entuufu, mu makaage ate nga waali oba abantu be.
Bannamateeka ba Kyagulanyi aba Wameli and Company Advocates mu bbaluwa gye baawandiikidde Kaminsona wa URA avunaanyizibwa ku bintu ebiyingira n’okufuluma eggwanga nga 26, February, 2021 baamukakasizza
nga bwe baafunye ebbaluwa gye yawandiikidde Kyagulanyi nga bamusaba okuzzaayo emmotoka ye bagyekebejje mu bwangu.
Kyokka baagambye nti eky’okuzzaayo emmotoka tebajja kukikola, kuba emmotoka baasooka kugibatwalira ne beekebejja buli kye baagala oluvannyuma n’ebaddira nga bakakasizza nti beekebezze buli kye baagala era Kyagulanyi agirina mu mateeka.
Bagamba nti tebalina ngeri gye bayinza kuzzaayo mmotoka ya Kyagulanyi ey’ekika kya Toyota Land Cruiser V8 REG.NO. UBJ 667F.