Kyaddaki kkooti ensukkulumu ekirizza Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okuggya omusango mu kkooti ogw’ebyokulonda.
Mu kkooti, abalamuzi 9 nga bakulembeddwamu ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo bakkiriza Kyagulanyi okugyayo omusango gwe, mwe yali awakanyiza obuwanguzi bwa munna National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga mu kulonda okuwedde ogwa 14, Janwali, 2021.
Mu kkooti, Bobi Wine yatwalayo Pulezidenti Museveni, akakiiko k’ebyokulonda ssaako ne Ssaabawolereza wa Gavumenti era bonna bakkirizza okuggyayo omusango.
Ku nsonga y’okumutanza ensimbi, ku musango ogugiddwayo, Munnamateeka wa Kyagulanyi Medard Sseggona Lubega asabye kkooti, buli ludda okwesasulira ssente zerusasaanyiza wakati mu kutambuza omusango.
Wabula kkooti esuubiza okuwa ensala yaayo gye bugya era nga ensalawo ya kkooti ku ky’okuggyayo omusango esomeddwa omulamuzi Stella Arach Amoko.
Kyagulanyi agamba nti ensonga y’okumulemesa okutwala obujjulizi mu kkooti y’emu ku nsonga lwaki abadde alina okugyayo omusango.
Wadde omusango gugiddwayo, munnamateeka wa Pulezidenti Museveni Edwine Karugire akubye ebituli mu nsonga za Bobi Wine okuggya omusango mu kkooti.
Kyagulanyi yali aweereddwa okutuusa nga February 14, 2021 okubeera ng’amaze okutwala mu kkooti obujulizi bwonna bw’agenda okwesigamako kyokka olunaku lwaggwaako nga yaakatwalayo obujulizi bw’abantu 50 bokka omuli obubwe.
Enkeera nga February 15, 2021 Bobi ng’ayita mu balooya be abaakulemberwa Anthony Wameri baatwalayo obujulizi obulala bw’abantu abasukka 150 kyokka kkooti n’ebugoba, ekyavaako Bobi Wine okulangirira nga bw’agenda okuggya omusango mu kkooti agutwale mu kkooti y’abantu.
Omusango gwa Kyagulanyi gwatekeddwa mu Kyapa kya Gavumenti ku Mmande nga 1, March, 2021 wabula omusango gugiddwa mu kkooti olwaleero nga 5, March, 2021.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Omulamuzi Simon Byabakama yalangirira Museveni owa National Resistance Movement (NRM) nga 16, Janwali, 2021 ku buwanguzi n’obululu 5,851, 037 olwo n’addirirwa Kyagulanyi eyafuna obululu 3,475,298 kyokka Robert Kyagulanyi Ssentamu n’abiwakanya.
Mu byafaayo bya Uganda, Bobi Wine ye muyimbi asoose okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda, ye munnayuganda asoose okuggya omusango mu kkooti ensukkulumu ogw’ebyokulonda kwa Pulezidenti, ye muyimbi asoose okutwala Pulezidenti Museveni mu kkooti ensukkulumu n’akakiiko k’ebyokulonda ssaako ne ssabawolereza wa Gavumenti.
Bobi Wine okuyingira mu byafaayo bya Uganda nga munnabyabufuzi, kabonero akalaga nti asukkulumye nnyo ku bannayuganda bangi ate mu kisaawe ky’okuyimba ali wala nnyo era abayimbi nga Bebe Cool basigadde mu kamooli.