Katikkiro Mayiga adduumidde ku ddagala lya Covid-19, mwesonyiwe ebigambo by’abantu.
Katikkiro wa Buganda munnamateeka Charles Peter Mayiga akuutidde bannayuganda okujjumbira okugemwa Covid-19, okusinga okudda mu kulimbibwa abantu abali mu kutambuza ebyabwe.
Katikkiro agamba nti waliwo abali mu kutambuza ebigambo, nti abazungu basindikidde Africa eddagala, erigenda okubatta nga berimbise mu kulwanyisa Covid-19.
Bw’abadde mu lukiiko lwa Buganda ku Bulange e Mmengo enkya ya leero, Mukuumaddamula Peter Mayiga agambye nti abazungu betaaga nnyo abadugavu wakati mu kutambuza emirimu gyabwe omuli okusima zzaabu.
Abalabudde bannayuganda okuva ku bigambo by’abantu w’abula okujjumbira okwegema singa omukisa gubaawo.
Mungeri y’emu agambye nti, “Ssaabasajja Kabaka gyali alamula era nga mu kiseera kino ali Nairobi mu Kenya era yalambudde Nnamasole Margaret Siwoza abadde ajjanjibibwa mu ddwaliro e Nairobi wamu n’abantu abalala. Ssaabasajja Kabaka asubiirwa okudda mu Uganda mu bbanga ettono”.
Katikkiro Mayiga alaga nti adduumidde asabye gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okusasula Obwakabaka obuwumbi 51 gavumenti bw eyali esuubiiza okusasulwa mu bajeti ya 2018 – 2019 ne 2019 – 2020 nga ku zino Buganda yafunako obuwumbi 13 bwokka. Asabye Gavumenti okusasula ssente zonna oba okuzaayo ebintu bya Buganda byonna.
Mungeri y’emu agambye nti abantu mu Buganda batyobodde nnyo ennono ku mikolo egy’okwanjulwa, “abantu ne bentinkuula mu ngeri eswaza ennyo. Obulenzi bu katumwa ne bwekola ebintuntu. Omuko ayanjuddwa nadda mu kwentinkuula olwo bakutende batya?, Mayiga avumiridde ebikolwa ebityoboola obuwangwa waokumansamansa ssente n’abalenzi abakyuusiza engoye ku buko tebyetaagisa.”.
Ku nsonga y’abantu abegumbulidde okusiiga abantu enziro, Mayiga agambye nti “waliwo ekibinja ky’abantu ekiri ku mitimbangano ekisasulwa okwonoona amannya g’abantu. Kati abantu nga bano bawoza nti buli kizimbe mu kibuga Kampala kyange naye baagala kutujja ku mulamwa naye tetugenda kuterebuka ku kyetuliko, kuzza Uganda ku ntikko. Abantu ne muddawo ne mubika Ssaabasajja Kabaka ne Kabaka yeenyini natuuka n’okyogerako! Kabaka abewuunya. Mwegendereze nnyo bamuloddo kaayi nkuuwe”.
Mu lukiiko lwa leero, avumiridde ebikolwa eby’okutyoboola eddembe ly’obuntu omuli abantu okuwambibwa n’okusibwa ebbanga nga tebatwaliddwa mu mbuga z’amateeka.