Museveni akubye Bobi Wine omusumaali ogusembayo, entekateeka ziwedde, kiggwa 12, May, 2021
Gavumenti esuubuza obulamu obulungi mu Gavumenti empya, eganda okutandiika mu May, 2021.
Okusinzira ku mwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo, omukulembeze w’eggwanga omulonde era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni wakulayizibwa nga 12, May, 2021.
Ofwono agamba nti mu Gavumenti empya, nga Museveni alayidde, ebyefuna bigenda kweyongera, okwongera amaanyi mu kulwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga, okulwanyisa obwavu ssaako n’okuzaamu essuubi ku bannayuganda bonna.
Wabula Pulezidenti Museveni okulayira nga 12, May, 2021, kabonero akalaga nti essuubi lya Bobi Wine okutwala kabiite we Barbie Itungo mu State House mu 2021 liweddewo, alina kulinda 2026, okusobola okuddamu okwesimbawo.
Ofwona abadde ku Media Center mu Kampala mu kujjukiza bannayuganda nga bweguze omwaka omulamba bukya ekirwadde ki Covid-19 kituuka mu ggwanga lino.
Mu bigambo bye, Ofwono yebazizza bannayuganda bonna okukolera awamu mu kulwanyisa Covid-19 omuli abalimi, abakoze omulimu ogw’enjawulo eggwanga okufuna emmere, abasawo abakoze omulimu ogw’enjawulo mu kujanjaba bannayuganda.
Mungeri y’emu agambye nti wakati mu kulwanyisa Covid-19, waliwo bannayuganda abaakubwa amasasi mu butanwa mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo era abamu battibwa.
Ofwono agamba nti Gavumenti ensonga ezo ezimanyi bulungi ddala era Gavumenti egenda kukola ku nsonga zaabwe okusasulwa.
Ate kkooti ensukkulumu olunnaku olwaleero, ekedde kusibawo emiryango gyonna egiyingira mmunda, okulemesa abantu bonna okuyingira mmunda okubaako ensonga z’okwebuuza.
Abamu ku bagaaniddwa okuyingira ye munnamateeka Male Mabirizi abadde akedde okufuna ensala ye, okuva eri omulamuzi Esther Kisakye ku ky’okusaba Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo okuva mu musango gwa Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ogwali mu kkooti ensukkulumu ng’awakanya obuwanguzi bwa Yoweri Kaguta Museveni ku bukulembeze bw’eggwanga lino mu kulonda okuwedde nga 14, Janwali, 2021.
Mabirizi oluganiddwa okuyingira, agambye nti ebigenda mu maaso mu kkooti biraga nti vvulugu yeyongedde mu kkooti ensukkulumu kyokka byonna Ssaabalamuzi Owiny-Dollo alina okubisasulira.
Omulamuzi Kisaakye agenze okufuluma ng’asuubira okuwa ensala ye, asanze ttenti egiddwawo nga ne Ntebe zitwaliddwa.
Amangu ddala, omulamuzi Kisaakye atabukidde obwa nakyemalira obweyongedde ku kkooti ensukkulumu, obutuusiza n’okulagira kkooti okuggalawo ne balemesa abantu okuyingira.
Omulamuzi Kisaakye mu ngeri y’emu agambye nti ne fayiro eyabaddemu ensala ye ku Kyagulanyi okuggya omusango mu kkooti, eyatwaliddwa Ssaabalamuzi Owiny-Dollo bakyagaanye okugimuddiza.