Abatuuze b’omu Ghetto abawangalira e Makerere, bawanjagidde Gavumenti okubaduukirira n’emmere gye bayinza okuliisa abaana mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Abatuuze, bagamba nti olw’abaana obutasoma nga basiiba waka, ebikolobero byeyongedde mu kitundu kyabwe olw’abaana okunoonya eky’okulya.

Banno nga bakulembeddwamu Racheal Mutesi omu ku bakulembeze mu kibiina ky’obwannakyewa ekikola ku nsonga z’abaana, agamba nti abaana beyongedde okutayaaya, akawungeezi basangibwa nga bali mu nsonga za kikulu ne baana banaabwe.

Mutesi mu ngeri y’emu agamba nti n’abasajja begumbulidde okusobya ku baana abato olw’embeera eri mu kitundu kyabwe wakati mu kunoonya eky’okulya.

Awanjagidde ekitongole ekya Poliisi, okubayamba mu nsonga z’okusobya ku baana abato, abasajja bakwattibwe nga n’okutyoboola eddembe ly’abaana kweyongedde mu kiseera kino.

Mutesi one final

Mutesi mu ngeri y’emu abikudde ekyama nti abatuuze b’omu Ghetto e Makerere beyongedde okunywa enjaga.

Agamba nti bangi ku batuuze bafunye okutegeezebwa nti enjaga eyambako mu kuwonya Covid-19 era mu kiseera kino, emyaka gyonna gyegumbulidde okunywa enjaga.

Mutesi alabudde nti singa tebayambibwa, omuwendo gw’abaana okusobezebwako, gugenda kweyongera nga kivudde ku bantu okweyongera okunywa enjaga.

Mutesi njaga Final

Ate abakulembeze mu disitulikiti y’e Kabale basobeddwa ku bantu abalina emputtu wakati mu kulwanyisa Covid-19, ekyongedde okutambuza obulwadde.
Mu kiseera kino eddwaaliro ekkulu e Kabale liyina abalwadde 70 abali mu mbeera mbi ate abalwadde abasukka 400 basabiddwa, okubajanjabira awaka, nga tebali mu mbeera mbi.
Wabula okusinzira kw’amyuka akulira ebyobulamu ku nsonga z’abaana n’okuzaala mu disitulikiti y’e Kabale era nga ye ssaabawandiisi wa disitulikiti ku nsonga za Covid-19 Paddy Mwesigye, agamba nti bangi ku balwadde abaasindikiddwa okubajanjabira awaka, beyongedde okutambuza obulwadde.
Paddy agamba nti abalwadde batambula ne bagenda mu bbaala, Obutale, ekyongedde okutambuza obulwadde.
Mungeri y’emu agamba nti disitulikiti ereese enkola empya, okutegeeza bassentebe ku byalo ku balwadde abali mu bitundu byabwe okubaziyiza okutambula n’okutangira okutambuza obulwadde.
Ate Dr. Sophie Namasopo akulira eddwaaliro e Kabale, agamba nti naye afunye okwemulugunya nti bangi ku balwadde, abaasindikiddwa okwekuumira awaka, ate batambula ne bagenda mu Hoteero omuli okunoonya eky’okulya, ekyongedde okusajjula embeera.

Uganda yakazuula abantu 67,215 abalwadde ate yakafiisa 542.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/487109959210043