Abantu babiri (2) basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya ku misango gy’okwagala okutta Gen Katumba Wamala ku ntandikwa y’omwezi guno ogwomukaaga.
Gen. Katumba yalumbibwa nga 1, omwezi guno Ogwomukaaga mu zzooni y’omu Kisaasi mu Kampala, abasajja abaali ku Pikipiki era muwala we, Nantongo Brenda yattibwa nga yakubiddwa amasasi ne Ddereeva we Sgt. Haruna Kayondo.
Wabula Poliisi, esobodde okusindika mu kkooti abantu babiri (2) omuli Sserubula Hussein Ismael amanyikiddwa nga Imamu Muto myaka 38 ne Nyanzi Yusuf Siraji myaka 46 ku misango 2 egy’obutemu n’emisango 2 egy’okwagala okutemula abantu.
Ku basindikiddwa mu kkooti, Sserubula musajja avuga bodaboda nga mutuuze we Nakuwade e Nakabugo – Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso ate Nyanzi Siraji mutuunzi wa ddagala gganda nga mutuuze we Kyanja e Nakawa mu Kampala.
Bonna basimbiddwa mu kkooti e Nakawa era bonna basindikiddwa ku limanda mu kkomera e Kitalya okutuusa nga 3, Ogwomunaana, 2021.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agamba nti okweyambisa obujjulizi bwa kkamera n’abatuuze abaaliwo ng’ettemu likolebwa, y’emu ku nsonga lwaki Sserubula ne Nyanzi basindikiddwa mu kkomera.
Ebya Gen. Katumba tebinaggwa, ebya Gen. Katumba bikyalanda
Ate Poliisi y’e Soroti ekutte abantu mukaaga (6) ku misango gy’okubba enkumbi mu kibuga kye Soroti ku ntandikwa y’omwezi guno.
Abakwattiddwa mwe muli Phoebe Alupo, Fred Enabu, Simon Opejo, John Bosco Okiror, Charles Akol ne Alex Osauro.
Poliisi egamba nti yafunye okutegezebwako okuva mu batuuze nti waliwo abantu abatunda enkumbi za Gavumenti.
Oscar Gregg Ageca, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kyoga agamba nti Poliisi ezudde ebbokisi 27 nga mulimu enkumbi 648 okuva mu basuubuzi ab’enjawulo.
Ageca, agamba nti Poliisi eyongedde amaanyi mu kunoonyereza okuzuula enkumbi zonna ezatwaliddwa.
Mungeri y’emu agamba nti waliwo abakungu abaakwatiddwa kyokka oluvanyuma baayimbuddwa ku birabiro by’omuwaabi wa Gavumenti omuli akulira eby’ensimbi mu kibuga Abraham Oriokot.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/832623924052478