Omubaka we Kawempe North Muhammad Ssegirinya agumizza abalonzi mu Konsituwense ye nga bw’agenda okweyambisa ssente ez’okugula emmotoka, okuleeta akamwenyumwenyu ku matama gaabwe.

Buli mubaka wa Palamenti, alina okufuna obukadde 200 okwegulira emmotoka, eyinza okumuyambako mu kutambuza emirimu gya Konsituwense ye.

Mu kiseera kino Palamenti erina ababaka 529 ne Baminisita nga si babaka ba Palamenti 26 era bonna balina okufuna ssente obukadde 200.

Muhammad Ssegirinya

Kigambibwa ababaka abamu, ssente bazifunye dda era bali mu ntekateeka okulamuza emmotoka empya.

Wabula omubaka Ssegirinya agamba nti ssente singa zituuka ku akawunti ye, agenda kuzeyambisa okuzaamu essuubi abalonzi be omuli okubagulira ennyama, amatooke, akawunga, enkoko, ssaako n’ebintu ebirala.

Ssegirinya agamba nti abantu bali mu mbeera mbi nga tebalina kyakulya era bayinza okufiira mu nnyumba olw’enjala ng’emu ku nsonga lwaki alina okweyambisa ssente z’emmotoka okutaasa embeera.

Mungeri y’emu Ssegirinya abotodde ekyama nti ekiri e Kawempe, Bassemaka bakola kyonna ekisoboka okuzaala abalongo mu kiseera kino.

Eddoboozi lya Ssegirinya

Ssegirinya agamba nti mu kisanja kye, buli mukyala azaala abalongo mu ddwaaliro e Kawempe, wakuweebwa kiro z’ebyenda 4 nga y’emu ku nsonga lwaki buli mukyala, abafumbo banoonya balongo mu kitundu kye.

Agamba nti buli mukyala alina okuweebwa sukaali, sabuuni, obugoye mu kiseera ng’ali mu Palamenti kuba alina okukyusa embeera mu kitundu kye.

Ate abakulembera abayizi ku Yunivasite y’e Makerere, bavuddeyo ku nsonga ezibanyigiriza mu kiseera kino eky’omuggalo wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Abayizi bano nga bakulembeddwamu ‘Guild’ Pulezidenti, Ivan Ssempijja, bawadde Gavumenti nsalesale wa ssaawa 72 nga singa tebayambibwa, ku Mmande ya sabiiti ejja nga 26, omwezi guno Ogwomusanvu, bagenda kutambuza ebigere okulumba ekitebe ky’ebyenjigiriza mu ggwanga okufuna okudibwamu.

Ssempijja ne banne nga basinzira ku Yunivasite e Makerere banokoddeyo ezimu ku nsonga zebetaaga okudibwamu omuli Yunivasite okusomesa abayizi nga bayita ku mutimbagano ate nga Data ayongedde okulinnya ebbeeyi, Gavumenti okuyamba abayizi abali mu Hositeero abalemererwa okuddayo awaka olw’embeera ssaako n’okutegeera Pulaani ya Gavumenti mu kuyamba ebyenjigiriza, ebikoseddwa mu kiseera kino.

Ssempijja agamba nti Gavumenti erina okuvaayo ku nsonga ezo kuba abayizi bangi bakoseddwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/337064674593901