Poliisi y’e Nansana ekutte abantu 2 nga bazindukirizza omukyala akola mu kibiina ky’obwanakyewa omukozi ku by’okulondola ssente mu kibiina ekya BRAC ne bamubako obukadde 3 n’emitwalo 30.

Okusinzira ku mukyala Olivia Nakayondo, ng’emirimu gye agitambuliza mu bitundu bye Kyebando, Nansana, kuntandikwa y’omwezi ogwedde ogw’okuna, abasajja abakwatiddwa, bamuteega mu kkubo okumubba era okwagala okwetaasa, batwala ensawo eyalimu ssente.

Mungeri y’emu alumiriza abakwate okumulumbagana nga bakutte ebisi omuli obutayambibwa ku bodaboda yabwe namba UEN 150V mu bitundu bye Bujjuko.

Abakwatiddwa kuliko Cheema Twaha, 28, ne Alex Mpakanyike, 33 era mu kiseera kino bali mu kaduukulu ka Poliisi e Nasana ku misango egyenjawulo omuli egy’obubbi, okutisatiisa omukyala n’emisango emirala.