Kyaddaki ekitongole ekikuuma ddembe ekya Poliisi kivuddeyo ku nsonga za Munnayuganda Fred Lumbuye Kajubi ezibaddeko, akabuuza okuva sabiiti ewedde.

Sabiiti ewedde, Minisita omubeezi ow’ensonga ez’ebweru Okello Oryem yagambye nti Lumbuye ali mikono gyabwe, era wakutuusibwa mu ggwanga ku lunnaku Olwomukaaga nga 7, Omwezi guno Ogwomunaana.

Lumbuye ng’ali ku misango egisukka 40 omuli okweyambisa emikutu migatta abantu omuli Face Book okutambuza amawulire ag’obulimba n’okubika abantu, ensonga ze, zongedde okubuzabuza bangi ku bannansi nga tekimanyiddwa oba yakomezeddwawo okuva mu ggwanga erya Turkey gy’abadde akolera.

Enkya ya leero, mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, agambye nti bo nga Poliisi, Lumbuye tali mikono gyabwe.

Mungeri y’emu agambye nti wadde Lumbuye tali mu mikono gyabwe, bamaze okutegeka fayiro z’emisango egisukka 15 gy’alina okwewozaako mu kkooti.

Vidiyo

Wadde Poliisi evuddeyo ku nsonga za Lumbuye, Gavumenti tennaba kuvaayo okubaako kyeyogera.
Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinooyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Charles Twine agamba nti Lumbuye alina emisango egisukka 40 okuva 2018, Poliisi ebadde emunoonyerezaako nga balinze bulinzi atuuke mu mikono gyabwe.