Bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) basobodde okufuna ssente okulemesa Gavumenti ya Uganda okuzza Fred Kajjubi Lumbuye mu ggwanga okuva e Turkey.
Amawulire agaliwo, galaga nti aba NUP basobodde okufuna ekibiina kya Bannamateeka mu ggwanga erya Turkey okuyingira mu nsonga za Lumbuye.
Okusinzira ku nsonda ezesigika mu kibiina ki NUP nga bagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, bagamba nti NUP yafunye bannamateeka okusaba Ssaabawolereza wa Gavumenti mu ggwanga erya Turkey okuyimiriza eky’okuzza Lumbuye mu Uganda
Bannamateeka bagamba nti Lumbuye bw’aba alina emisango, akkirizibwe awozesebwe mu kkooti ze Turkey.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/08/Lumbuye.jpg)
Kigambibwa bannamateeka baddukidde eri Ssaabawolereza wa Gavumenti mu Turkey sabiiti ewedde ku Lwokuna nga 5, August, 2021 okusaba eky’okuyimiriza Lumbuye okumuzza mu Uganda.
Amawulire galaga nti aba NUP baabadde balina okweyambisa $71,000 (ssente obukadde 255) eri bannamateeka, okutaasa Lumbuye okusobola okuddukira mu ggwanga erya Netherlands.
Mu kiseera kino, amawulire galaga nti Lumbuye yasobodde okudduka okuva mu ggwanga erya Turkey okudda e Netherlands kyokka tewali muntu yenna alina bukakafu.
Olunnaku olw’eggulo, bannakibiina ki NUP abali mu nsi z’ebweru baabadde bakakunganya $20,000 (obukadde bwa ssente obuli 70) ezaweereddwa bannamateeka abali mu nsonga za Lumbuye era okusonda kukyagenda mu maaso.
Munda mu NUP, waliwo abagamba nti Lumbuye akyali mu kkomera mu ggwanga erya Turkey era bannamateeka bokka bebakkirizibwa okumulabako.
Ani mutuufu?
Sabiiti ewedde ku Lwokutaano nga 6, Ogwomunaana, 2021, Minisita omubeezi ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Henry Okello Oryem yagambye nti Lumbuye ali mu mikono gyabwe era yasuubiza nti wakutuuka mu Uganda ku Lwomukaaga 7, Ogwomunaana, 2021 wabula wadde yali asuubiza eggwanga, Lumbuye talabikako era bangi ku bannayuganda bakyabuuza lwaki Minisita Oryem yenyigidde mu kulimba eggwanga.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/08/Okello.jpg)
Olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 9, Ogwomunaana, 2021, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga naye yavuddeyo ku nsonga za Lumbuye.
Enanga bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, yagambye nti Lumbuye tali mu mikono gyabwe.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/08/enanga.jpg)
Mungeri y’emu agambye nti wadde Lumbuye tali mu mikono gyabwe, bamaze okutekateeka fayiro z’emisango egisukka 15 gy’alina okwewozaako mu kkooti singa atuuka mu mikono gyabwe.
Omwogezi w’ekitongole kya poliisi ekinooyereza ku buzzi bw’emisango ekya CID, Charles Twine agamba nti Lumbuye alina emisango egisukka 40 okuva 2018, Poliisi ebadde emunoonyerezaako nga balinze bulinzi atuuke mu mikono gyabwe.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/08/Charles-Twine.jpg)
Twine agamba nti Lumbuye abadde yegumbulidde okutambuza amawulire ag’obulimba ku mikutu migatta bantu n’okubika abantu omuli ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni.