Omu ku bavuganya ku bubaka bwa Palamenti e Nakawa West Mukesh Babubhai Shukla addukidde mu kkooti enkulu mu Kampala okusaba akkirizibwe atwale enoongosereza mu mpaaba ye, mwawakanyiza obuwanguzi Joel Ssenyonyi.

Mu kulonda kwa 14, Janwali, 2021, Mukesh Babubhai Shukla yakwata kyamukaaga (6) era nga 19, Ogwokusatu, 2021, yaddukira mu kkooti ng’awakanya eky’akakiiko k’ebyokulonda okulangirira Ssenyonyi ng’omuwanguzi.

Mukesh agamba nti wadde yaddukira dda mu kkooti, yafunye obujjulizi obupya okuwakanya obuwanguzi bwa Ssenyonyi era ayagala kkooti emukkirize abutwale mu kkooti.

Mukesh ng’ayita mu bannamateeka be aba Ssemwanga, Muwazi and Company Advocates ne Bwango Araali and Company Advocates baatwala mu kkooti enoongosereza nga 10, May, 2021 wadde bakyalinze okusaba kwa kkooti mu butongole.

Mu bujjulizi obulala, Mukesh alina okwemulugunya ku biwandiiko bya Ssenyonyi eby’obuyigirize. Agamba empapula za Ssenyonyi eza S4 ne S6, ziraga nti yali ayitibwa Joel Basekezi kyokka bwe yali yewandiisa okuvuganya e Nakawa West, yakozesa linnya lya Ssenyonyi B. Joel.

Mungeri y’emu agamba nti okunoonyereza kulaga nti mu 2010, amassomero ga St Lawrence Schools ne Colleges Crown City Campus gaali tegannaba kutandika, ekiraga nti ebiwandiiko bya Ssenyonyi  byonna bya bulimba.

Mu kkooti, ayagala Ssenyonyi agibwe mu Palamenti, kkooti eragire baddemu okulonda e Nakawa West.

Entiisa ebuutikidde abatuuze mu disitulikiti y’e Mukono, ekirombe ky’amayinja bwe kibuutikidde omu ku bakyala era kati z’embuya ezikunta.
Viola Nakato myaka 24, yattiddwa mu kirombe kye Bwefulumya-Kisoga mu ggoombolola y’e Nama ate mukwano gwe Ruth Mbabazi myaka 27, asimatuuse era atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mukono ng’akoseddwa amaggulu.
Abatuuze bagamba nti ekirombe, kyali kigaddwawo amyuka RDC Richard Bwabye ng’abatuuze basukkiridde okwemulugunya ku mbeera yakyo mu kitundu kyabwe.

Embeera mu kirombe

Mbabazi ng’asangiddwa mu ddwaaliro, agamba nti wadde asimatuuse, akoseddwa nnyo amaggulu ate omugenzi ettaka, limusangirizza ng’ali mu kulya mmere.
Omugenzi yali mutuunzi wa nkoko e Namawojjolo ku luguudo oluva e Kampala okudda Jinja kyokka olw’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuyimiriza entambula y’olukale, okuva omwezi Ogwomukaaga, y’emu ku nsonga lwaki yasalawo okudda mu kusima amayinja.
Ate abatuuze nga bakulembeddwamu Rose Namagembe bagamba nti embeera mbi, ey’okunoonya ensimbi okubezaawo amaka, y’emu ku nsonga lwaki bangi ku bakyala begumbulidde okudda mu kusima amayinja mu disitulikiti y’e Mukono.
Mungeri y’emu bagamba nti n’abaana abato beyongedde okwenyigira mu kusima amayinja olw’amassomero, okusigala nga maggale wakati mu kulwanyisa Covid-19.
Omu ku bakyala mu kirombe agaanye okwatuukiriza amannya ge agamba nti Nakato abadde alina muganzi we era yabadde ategese okumukyalirako akawungeezi ka leero kuba abadde amwagala nnyo.
Omukyala agamba nti Nakato okufa ku myaka 24, eggwanga lifiiriddwa nnyo kuba abadde muwala muto.

Ebirala ebifa mu nsi – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/862396811327523