Abamu ku bakiise ba Palamenti abatuula kakiiko ka Palamenti akalondoola ebyenjigiriza mu ggwanga, basabye Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo era kabiite w’omukulembeze w’eggwanga lino Janet Kataaha Museveni okulekulira, asigaze emirimu gye  mu ‘State House’ nga mukyala w’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.

Bano nga bakulembeddwamu Minisita w’ebyenjigiriza mu Gavumenti y’ekisikirize era Omubaka omukyala ow’e Luweero Nabukenya Brenda, bagamba nti Baminisita bonna bateekeddwa, okukiika mu Palamenti ne baanukula ku nsonga enkulu ezigenda mu maaso mu ggwanga lino.

Wabula Minisita Kataaha Museveni tafaayo, okwanukula ku nsonga yonna, olw’okuba yatokosa ettooke era kabiite we, eyamulonda, ekigotaanyizza ensonga y’ebyenjigiriza wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Minisita Kataaha

Hon. Nabukenya ne banne okutabuka, kidiridde Minisita Kataaha Museveni okugyeema, okulinya mu Palamenti okunyonyola ku nsonga y’ebyenjigiriza kyokka nasuubiza okusisinkana akakiiko akalondoola ebyenjigiriza mu State House Entebbe.

Wabula ku ssaawa envanyuma, akyusizza entekateeka, okubatwala e Kololo, ekyongedde okutabula abamu, ku bakiise ba Palamenti, abatuula kakiiko k’ebyenjigiriza, kye bayise okubayisaamu amasso ne bagaana okulinyayo.

Wabula ssentebe w’akakiiko, munna National Resistance Movement (NRM) John Twesigye era omubaka we Bunyangabu, akulembeddemu abamu ne basisinkana Minisita Kataaha ku kisaawe e Kololo wakati mu byokwerinda.

Wabula Hon Nabukenya ne banne, bagamba nti bakooye ejjoogo lya Minisita Kataaha Museveni ku nsonga z’ebyenjigiriza.

Ate omubaka we Ntebbe Kakembo Mbwatekamwa asabye Minisita Kataaha Museveni okusalawo, okuwereza eggwanga oba okulekulira, asigaze emirimu gya bba mu State House Entebbe.

Eddoboozi ly’omubaka Mbwatekamwa

Mbwatekamwa agamba nti Minisita Kataaha okwagala ebitiibwa ebisukkiridde, y’emu ku nsonga lwaki n’emirimu gyongedde okumulema.

Ezimu ku nsonga lwaki balemeddeko, betaaga Minisita okutangaaza eggwanga ekiddako ku nsonga y’ebyenjigiriza nga mu kiseera kino amassomero gaggalwa wakati mu kulwanyisa Covid-19, abasomesa basuddewo obusomesa ne badda ku mirimu gyabwe, amassomero agamu gatundibwa, abayizi beyongedde okufuna embutto kyokka Minisita akyalemeddwa okutaangaza eggwanga ku ky’abaana okudda ku massomero.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/569743570695026