Omukyala munnansi wa Kenya omukozi w’awaka myaka 22 asindikiddwa ku limanda ku misango gy’okusobya ku mwana omulenzi myaka 12 n’omulagira Omwana omuto omuwala myaka 5 okunuuna ebitundu by’ekyama ebya muganda we omulenzi.
Omukyala ono Sabina Mwikali asimbiddwa mu kkooti ng’ali n’omwana we myezi esatu (3).
Okusinzira ku ludda oluwaabi, wakati wa January, 2020 ne July, 2020 mu kibuga Nairobi, omukyala ono, yasendasenda omwana emirundi egiwera okumusobyako.
Oluvanyuma lw’okumusobyako, yayitanga muto we, okunuuna ebitundu by’ekyama ebya muganda we.
Mu kkooti aguddwako emisango esatu (3) omuli okusobya ku mwana omuto kyokka gyona agyegaanye.
Sabina, yawumula emirimu gy’awaka era abadde yafumbirwa dda kyokka maama w’abaana bwe yafunye omukozi omulala, abaana kwe kumusaba akole nga Sabina bwe yali akola.
Abaana bategeezeza nti Sabina yali mukozi mulungi ddala nga yali abatendeka okwerigomba ssaako n’okunuuna ebitundu by’ekyama ng’abategeeza nti biwooma okusinga ku swiiti.
Maama yavudde mu mbeera kwe kuddukira ku Poliisi era amangu ddala Sabina yakwattiddwa.
Mu kkooti, mu maaso g’omulamuzi Jane Kamau, Sabina asabye okweyimirirwa kuba kati mukyala muzadde ng’alina n’omwana omuto myezi 3 eyetaaga okulabirira.
Wabula omulamuzi agaanye okumuyimbula era asindikiddwa ku limanda okutuusa nga 1, omwezi ogujja Ogwomwenda, 2021.