Kkooti enkulu mu Kampala eyongezaayo okutuusa nga 2, omwezi ogujja Ogwomwenda, 2021, okuwuliriza emisango egivunaanibwa omubaka we Kawempe North munna NUP Muhammad Ssegirinya egikwata ku byokulonda.
Sulaiman Kidandala, yaddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya obuyigirize bwa Ssegirinya n’engeri gye yasunsulwamu akakiiko k’ebyokulonda kwe kusaba kkooti, okusazaamu obuwanguzi bwe.
Wabula enkya ya leero, mu maaso g’omulamuzi Wolayo Henrietta, bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda nga bakulembeddwamu Edwin Tabaro, bagambye nti Ssegirinya tewali yamutegezaako nti mu kkooti alina omusango era y’emu ku nsonga lwaki ye ne bannamateeka be, mu kkooti tebalabiseeko.
Embeera eyo, ewaliriza omulamuzi Henrietta okwongezaayo omusango okutuusa nga 2, Omwezi ogujja, Ogwomwenda.
Oluvudde mu kkooti, ku lw’akakiiko k’ebyokulonda, Tabaro agamba nti Ssegirinya bw’aba tali mu kkooti, omusango tegusobola kugenda mu maaso.
Ate Kidandala eyatwala Ssegirinya mu kkooti, alabudde akakiiko k’ebyokulonda okukomya okweyingiza mu nsonga ezigenda okubaswaza.
Kidandala agamba nti akakiiko k’ebyokulonda kaakola ensobi okuviira ddala ku ntandikwa mu kuwandiisa Ssegirinya nawandisibwa, ng’alemeddwa okunoonya emikono egyetaagisa.
Ate munnamateeka wa Kidandala, Kenneth Paul Kakande agamba nti Ssegirinya ensonga zonna, azimanyi bulungi ddala kyokka wadde ali mu kwebuzabuza, alina okuggya mu kkooti okulaga ensi nti musajja yasoma era alina ebiwandiiko eby’obuyigirize.
Ssegirinya agamba nti ebiwandiiko byonna ebyetaagisa okuwangula omusango abirina era tewali ayinza kumulemesa mirimu gya Palamenti.
Ebiwandiiko bya Ssegirinya!
Mu biwandiiko ebyava mu kitongole ky’ebigezo ekya Uganda National Examinations Board (UNEB), biraga nti mu ebigezo bya S4 mu 2007 ku Index Number U0053/054, Ssegirinya agamba nti yabikolera mu Pimbas Secondary School ate ebiri mu UNEB biraga nti Index Number eyo ya muwala Sarah Nampiima eyatuulira ebigezo mu Mengo Secondary School.
Ate ebya S6, ebiwandiiko bye biraga nti S6 yagituulira ku Index Number UOO54/754 mu ssomero lya Pimbas S.S mu 2009, ebya UNEB biraga nti eyatuulira mu nnamba eyo ye Maureen Nabadda era nga naye yatuulira ebigezo mu Mengo Secondary School mu Kampala.
Ebyava mu UNEB!
Mu ngeri y’emu UNEB egamba nti ennamba U0054 ya Mengo Secondary School, ssi Pimbas Secondary School wabula agamba nti alina ebiwandiiko ebituufu era alinze kubyanjulira kkooti.
Ebyava mu Kulonda!
Mu kulonda nga 14, Janwali, 2021, Ssegirinya eyali alina kaadi ya National Unity Platform (NUP) yakawangulira waggulu n’obululu 41,197 n’addirirwa Kidandala eyafuna obululu 7,512. Tom Fisher Kasenge owa National Resistance Movement (NRM) yakwata kyakusatu n’obululu 6,946 ate Latif Ssebaggala Ssengendo eyali akiikirira ekitundu ekyo mu Palamenti n’akwata kyakuna n’obululu 3,919.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/193614032754268