Taata akubye muwala we emiggo era kabuze kata okumutta bwamukutte lubona ng’ali mu kaboozi n’omuvubuka ‘Boyfriend’ we.

Omuwala ali mu gy’obukulu 15 era bamukwatidde mu Galagi awaka oluvanyuma lwa taata okudda awaka era ng’omusajja omukulu, asobeddwa olw’amaloboozi agava mu Galagi ng’abantu bali mu kwerigomba.

Taata awunze olw’amaaso okutuukira ku muwala we nga yenna ali bukunya, yebase ku mukeeka, Boyfriend ali kunyumirwa.

Olw’okutya, omulenzi adduse era taata asobodde okukwata muwala we ku mukono era bwatyo namutwala mu ddiiro okumukangavula.

Olw’obusuungu, taata takkiriza muwala we kwambala ngoye era amukubye emiggo mu ddiiro okutuusa lw’ataasiddwa banneyiba.

Omuwala adduse mu kisenge ng’azimbye akabina kuba akubiddwa nnyo emiggo.

Embeera eno ebadde mu ssaza lya Adamawa mu ggwanga erya Nigeria.

Kivudde kuki?

Okusinzira ku batuuze, abaana obutasoma wakati mu kulwanyisa Covid-19, y’emu ku nsonga lwaki abaana beyongedde okwerigomba ku myaka emito.

Abazadde bagamba nti mu kiseera kino abayizi bangi bafunye embutto abamu tebalina ssuubi lya kudda ku massomero olw’embeera.