Omuntu omu akubiddwa amasasi agamutiddewo ate omulala, asigadde ali mu mbeera mbi lwa kunyooma biragiro by’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.
Ali Ssewankambo yattiddwa nga mutuuze mu Tawuni Kanso y’e Busiika mu disitulikiti y’e Luweero ate Livingstone Kaitwa atwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago ng’ali mu mbeera.
Kigambibwa, ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, Poliisi yasangiriza abatuuze nga bakyali mu Tawuni, kwe kubalagira okudda awaka olw’okuteeka mu nkola essaawa za Kafyu, ezitandiika ku ssaawa 1 ey’akawungeezi.
Embeera eyo, yavuddeko omusika omuguwa wakati w’abatuuze ssaako n’abasirikale era kigambibwa, abatuuze bakasukidde abasirikale amayinja.
Poliisi mu kwanukula, yasobodde okuwandagaza amasasi mu bbanga wabula omu ku basirikale Police Constable David Obong, yakubye amasasi, kwe kutta Ssewankambo ssaako n’okulumya Kaitwa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Isah Ssemwogerere, Poliisi ekutte abasirikale 4 abaabadde mu kikwekweeto, emmundu satu (3) zibagiddwako okuyambako mu kunoonyereza.
Wabula ssentebe wa LC III mu Tawuni Kanso y’e Busiika Richard Nyombi, asambaze ebyogerwa nti abasirikale baakubiddwa amayinja.
Ssentebe agamba nti omusirikale Obong yabadde atamidde nga y’emu ku nsonga lwaki yasse omuntu.
Wakati mu kulwanyisa Covid-19 n’okutangira ebikolobero obudde obw’ekiro, omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yassaawo kafyu okuva ku ssaawa 1 (7PM) ez’akawungeezi okutuusa 5:30AM ez’okumakya wabula mu kiseera kino, bangi ku bannayuganda begumbulidde okutambula ne mu ssaawa ezo.