Abakulembeze mu disitulikiti 3 okuli Mbale, Busia ne Butalejja basobeddwa olw’omuwendo gw’abaana abawala abafunye embutto ku myaka emito, mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Okusinzira kw’alipoota, mu bbanga lya myezi mukaaga (6) abaana 12,185 bafunye embutto.

Mu disitulikiti y’e Mbale, mu 2020 abaafuna embutto 400 wabula mu bbanga lya myezi 6 gyokka 2021, bakazuula abaana 6000.

Mu disitulikiti y’e Butaleja, wakati w’omwezi Ogwomukaaga n’omwezi guno Ogwomunaana, 2021, bakazuula abaana 2022 abafunye embutto n’okusingira ddala mu Tawuni Kanso y’e Nagiganda, eggoombolola y’e Nawanjofu, Busaba ssaako ne Busabi.

Ate mu disitulikiti y’e Mbale, ku bakyala 100 abagenda mu ddwaaliro okunywa eddagala nga bali embutto, 22 bakyali baana abato.

Wabula abakulembeze bagamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19, okuggala amassomero, abaana beyongedde okutayaaya nga kivudde ku bazadde okubaleka awaka nga bakedde okunoonya ensimbi.

Mungeri y’emu bagamba nti abaana abawala okuwulwa, ebyetaagisa nga bagenze mu nsonga, kyongedde okubasindikiriza okufuna abalenzi.

Okunoonyereza kulaga nti waliwo abafunye embutto nga kivudde ku baana okwegata ne baana banaabwe, abamu basobezeddwako ate waliwo abafumbiddwa ku myaka emito. Wabula Ivan Kaibo, ssenkulu w’ekibiina ky’obwannakyewa ekya Little Bit of Hope, agamba nti abazadde basukkiridde obutafaayo ku nsonga z’abaana baabwe, ekivudde abaana okweyambisa okwegadanga, okutwaliriza obudde n’okufuna ebyetaago.

Ate mu ggwanga erya Kenya, Poliisi mu bitundu bye Kericho , eri mu kunoonya ssemaka Alfred Kigena ali myaka 30 ku misango gy’okuyiira mukyala we amazzi agookya mu bitundu by’ekyama, ebisambi, ssaako n’amaggulu.

Omukyala Sharon Chepkorir myaka 25 wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti yamwokeza oluvanyuma lw’okumusanga ne ssimu ye.

Agamba nti, bba yayingidde mu nnyumba kwe kumusanga ng’aliko ennamba y’essimu gye yabadde akopa okuva mu ssimu kwe kutabuka.

Omukyala agamba nti bba, abadde yafuna obwenzi era kigambibwa ennamba y’essimu, yabadde ya mukyala we.

Olwavudde mu mbeera, yamukubye empi oluvanyuma yakutte amazzi agaabadde ku kyoto agaabadde aka ccaayi, kwe kumuyiira mu bitundu by’ekyama, ebisambi, ssaako n’amaggulu.

Omukyala, mu kiseera kino tasobola kutambula, okutuula ali maziga nga bba mu kiseera kino aliira ku nsiko.

Muganda w’omukayala David Yegon agamba nti baludde nga balina obutakaanya era batudde emirundi mingi, ogonjoola obutakaanya okwewala omusajja okutwalira amateeka mu ngalo ku muganda waabwe.

Yegon awanjagidde abakulu mu Gavumenti n’ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya omusajja, nga betaaga obwenkanya ku by’okwagala okutta muganda waabwe.

Kigambibwa, omukyala yakebedde essimu y’omusajja nga mulimu ‘message’ okuva eri omukyala omulala ‘Hello Dia” era yabadde agezaako okubikula ‘WhatsApp okusoma, bba kwe kumusanga.

Okusinzira ku mudduumizi wa Poliisi mu kitundu ekyo Evans Maritim, okunoonyereza kutandikiddewo ate ku by’okunoonya omusajja, Poliisi egumizza abatuuze okusigala nga bakakamu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/371529947999996