Omusajja Dovi Tsidi myaka 25 akwattiddwa Poliisi y’e Volta mu ggwanga erya Ghana ku misango gy’okusalako omwana omulenzi omutwe ali mu gy’obukulu 12.
Dovi nga mutuuze we Mafi mu disitulikiti y’e Tongu, nga musajja avuga bodaboda, omwana yamutta akawungeezi k’olunnaku olwa Ssande nga 29, omwezi guno Ogwomunaana.
Abamu ku batuuze, bagamba nti Dovi yalabiddwako ng’atambula n’omutwe gw’omwana ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.
Wabula waliwo ebigambibwa nti omwana yasoose kumutuga, oluvanyuma kwe kumusalako omutwe.
Oluvanyuma lw’okutta omwana, Dovi asangiddwa nga yekwese mu nju ya ‘Prophet’ Flora Ekpe omu ku bannadiini abasiinga amaanyi n’abagoberezi mu ggwanga erya Ghana.
Bannansi batabukidde ‘Prophet’ Flora, nga bagamba nti ayinza okubaako kyamanyi ku by’okutta omwana.
Wabula Poliisi eyingidde mu nsonga ezo, era Dovi akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu.
Addumira Poliisi mu kitundu ekyo Battor Aveyime alabudde abatuuze okwewala okutwalira amateeka mu ngalo.