Omulamuzi wa kkooti e Nakawa, Ponsiano Odwori ayongezaayo omulundi Ogwokuna, omusango gw’abantu abaakwatibwa ku misango gy’okulumbagana minisita w’emirimu Gen. Katumba Wamala ne batta muwala we Nantongo Brendah ssaako ne ddereeva we Haruna Kayondo nga 1, Ogwomukaaga, 2021.
Abali ku limanda, bali munaana (8) era okwongezaayo, kivudde ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Babrah Kyomugisha, okutegeeza nti bakyanoonyereza.
Mungeri y’emu omusibe Wampa Huzaifa amanyikiddwa nga Kanaabe azuuliddwa oluvanyuma lw’entuula satu (3) nga mu kkooti talabikako.
Wadde banne musanvu (7) bali ku limanda mu kkomera e Luzira, Kanaabe azuuliddwa nti yasindikibwa mu kkomera e Kigo, ekyongedde okutabula famire nga bebuuza engeri omusibe omusajja gy’asindikibwa mu kkomera ly’abakyala e Kigo.
Mu kkooti, bagulwako emisango gy’obutujju, Obutemu ssaako n’okwagala okutta abantu kyokka omulamuzi Odwori olwongezaayo emisango okutuusa nga 14, omwezi ogujja Ogwomwenda, 2021, abamu ku bafamire bakulukuse amaziga kye bayise okutulugunya abantu baabwe.
Mu kkooti, aba famire balabiddwako nga bayayaana okubuuza ku bantu baabwe, abasimbiddwa mu kkooti nga beyambisa enkola ya ‘zoom’, nga balina okweyambisa kompyuta, okubabuzaako n’okutegeera embeera gye balimu.
Munnamateeka w’abasibe Hamzah Sekidde awanjagidde oludda oluwaabi okwanguyiriza mu kunoonyereza nga kiswaza okwongezaayo emirundi 4 ku misango gyannagomola.
Abasibe abali ku Limanda e Luzira kuliko Hussein Sserubula, Yusuf Siraji Nyanzi, Muhammad Kagugube amanyikiddwa nga Musiramu, Kamada Walusimbi amanyikiddwa nga Mudinka, Siriman Ayuub Kisambira nga yeeyita Mukwasi Koja.
Abalala kuliko Abdulaziz Ramathan Dunku ne Habib Ramanthan.
Ate abazigu abasukka mu 10 balumbye ekirombe ky’amayinja ekya Jiu Zhou Stone company Uganda Limited ku kyalo Lule Ward mu Tawuni Kanso y’e Semuto mu disitulikiti y’e Nakaseke ne batematema abasirikale babiri (2), era batwaliddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi.
Oluvanyuma lw’okutematema abasirikale, emmundu 2 zitwaliddwa, okubba ssente ezitamanyiddwa muwendo, ezibadde emisaala gy’abakozi nga baakuzifuna leero.
Omu ku batuuze Edward Katumba agamba nti abazigu baalumbye ekirombe ku ssaawa 3 ez’ekiro, era abasirikale abaatemeddwa kuliko Simon Ebong ne Alfred Juster nga bakolera ku Poliisi y’e Semuto.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Isah Ssemwogerere, Poliisi nga yegatiddwako abatuuze, ku bazigu 10, 2 bakwattiddwa nga n’emmundu emu ezuuliddwa.
Ssemwogerere agamba nti okunoonya abazigu kugenda mu maaso mu kiseera kino.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/209091834536864