Kyaddaki Minisita w’ensonga z’ebweru w’eggwanga Gen. Jeje Odongo agumizza eggwanga ku nsonga y’ebyokwerinda wakati mu kwaniriza n’okukyaza, okubudamya bannansi ba Afghanistan abaatandise okutuuka mu ggwanga.
Sabiiti ewedde, Minisita omubeezi ow’ensonga z’ebweru w’eggwanga Mulimba John, yayimiriza bannamawulire wadde omuntu yenna, okutambuza ebifaananyi, bya bannansi ba Afghanistan abatuuse mu Uganda abali mu Hotero Entebbe.
Minisita Mulimba agamba nti abamu, ku baaleteddwa bayinza okuba nga betaagibwa, Abatalibaani abaakutte obuyinza mu ggwanga erya Afghanistan, ekiteeka eggwanga mu katyabaga k’ebyokwerinda ssaako n’abo ng’abantu, ate nga betaaga okuwumuza ku birowoozo.
Agamba okutambuza ebifaananyi byabwe, kyabulabe nnyo mu kiseera kino.
Ku nsonga ezo, okuva sabiiti ewedde, bannansi bali mu kutya nti okubudamya bannansi ba Afghanistan, abatujju bayinza okulumba Uganda oba okwerimbika mw’abo abagenda okuleetebwa ne benyigira mu kutega bbomu, eziyinza okutta abantu.
Wabula Minisita Jeje bw’abadde mu Palamenti mu kakiiko k’ensonga z’ebweru w’eggwanga, agumizza Bannayuganda ku bannansi ba Afghanistan abali kuno, nti bantu balungi, tebalina bulabe eri bannansi ssaako n’eggwanga.
Minisita agamba nti ye nga munnamaggye, okufuna ekitiibwa kya Gen, kiraga nti ensonga y’ebyokwerinda, agitegeera bulungi ddala.

Minisita Jeje okubyogera, kidiridde ababaka ba Palamenti ku kakiiko okumusaba anyonyole eggwanga ku by’okutya nti Bannansi ba Afghanistan bayinza okutega bbomu mu Uganda.
Ate Poliisi ezudde emmundu ey’okubiri, eyabiddwa ku basirikale, abazigu abasukka mu 10 we baalumbye ekirombe ky’amayinja mu Tawuni Kanso y’e Semuto mu disitulikiti y’e Nakaseke ne batematema abasirikale 2, abalekeddwa nga bali mu mbeera mbi.
Abazigu, oluvanyuma lw’okutematema abasirikale, emmundu 2 zatwaliddwa, okubba ssente ezitamanyiddwa muwendo, ezabadde emisaala gy’abakozi ez’omwezi oguwedde Ogwomunaana.
Omu ku batuuze Edward Katumba agamba nti abazigu baalumbye ekirombe ku ssaawa nga 3 ez’ekiro, ekyakeesezza olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri , era abasirikale abaatemeddwa kuliko Simon Ebong ne Alfred Juster nga bakolera ku Poliisi y’e Semuto.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah Isah Ssemwogerere, ku bazigu 10, 5 bakwattiddwa, emmundu zonna 2 zizuuliddwa nga waliwo ne mmotoka ekika kya Premio namba UAY 325N, eyakwatiddwa oluvanyuma olw’okusangamu ejjambiya 4 ng’abantu abalimu, ebigambo byabwe tebikwatagana.
Emmundu ezizuliddwa kuliko UG pol 565832838 ne UG pol 565835552.