Abakiise ba Palamenti abasibuka mu bitundu bya Buganda abegatira mu mukago ogwa Buganda Caucus, bawanjagidde ebitongole ebikuuma ddembe okwongera amaanyi mu kunoonyereza okuzuula ekituufu, ekivaako abantu okuttibwa mu bendobendo lye Masaka.

Abantu 26 bebattiddwa mu bbanga lya myezi 2 omuli omwezi Ogwomusanvu ssaako n’omwezi oguwedde Ogwomunaana, ekyongedde okutiisa abatuuze ssaako n’ebitongole ebikuuma ddembe okwongera amaanyi mu kunoonyereza.

Okusinzira ku Minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda mu ggwanga munnamaggye Gen. David Muhoozi, waliwo abaakwatiddwa ku misango gy’okutta abantu e Masaka.

Gen. Muhoozi agamba nti okunoonyereza kulaga nti ettemu erikolebwa, okweyambisa ebijambiya okutta abantu, bikolwa bya butujju, ebyetaaga omukono ogwekyuma.

Mungeri y’emu agamba nti newankubadde tebannazuula lwaki abantu battibwa, ekiriwo kiraga nti ebikolwa bigendereddwamu okutisatiisa abantu.

Kati no, okutya okuli e Masaka, y’emu ku nsonga lwaki abakiise ba Palamenti abasibuka mu bitundu bya Buganda, bateseteese ku Lwokutaano nga 3, omwezi guno Ogwomwenda, okukyala mu kitundu ekyo, okwongera okwekeneenya embeera.

Nga bali ku Palamenti

Mu kukyala e Masaka, bategese okwebuuza ku batuuze abenjawulo, okusisinkana ebitongole ebikuuma ddembe n’ogumya abatuuze abali mu kutya.

Bano nga bakulembeddwamu omubaka omukyala ow’e Mityana Joyce Bagala, omubaka we Nakaseke Central Allan Mayanja, David Lukyamuzi Kalwanga ow’e Busujju n’abalala, bagamba nti ye ssaawa, ebitongole by’okwerinda, okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekivuddeko abantu okuttibwa.

Mungeri y’emu bagamba nti, Gavumenti erina okuvaayo okulaga eggwanga, abantu abakulembeddemu okutta abantu ssaako n’abo abayinza okukiwagira, okusinga okudda mu kutambuza ebigambo, nti ettemu likolebwa bannabyabufuzi, okusiiga Gavumenti enziro.

Nga basinzira ku Palamenti y’eggwanga, ne ssentebe waabwe era omubaka we Butambala Muwanga Kivumbi, alabudde ebitongole by’okwerinda okwekeneenya abantu ab’enjawulo omuli abakulungudde emyaka mu LDU, bannayuganda abaali ku kyeyo mu nsi nga Iraq, okwekeneenya kawukuumi ali mu kitongole kya Poliisi ssaako n’abo abaali mu kabinja ka Bodaboda 2010.

Agamba abantu abo obutaba na mirimu, kiyinza okubasindikiriza okwenyigira mu bikolwa, ebiyinza okumenya amateeka.

Wabula Minisita w’amawulire n’okulungamya eggwanga Dr. Chris Baryomunsi yasuubiza nti Gavumenti okufulumya alipoota ku kitta abantu e Masaka sabiiti ejja.