Omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ayingidde mu nsonga z’ekizimbe, kalina ebadde ezimbibwa, eyagudde olunnaku olw’eggulo mu Kisenyi e Mengo.

Omuloodi akedde kulambula kizimbe ekyagudde, era agambye nti abantu mukaaga (6) bebafudde.

Mungeri y’emu agambye nti okunoonyereza kulaga nti ekizimbe kya mugagga Haruna Kiggundu.

Lukwago abadde omunyivu, agambye nti kyewunyisa abantu okusitula ebizimbe okuzimba ng’abantu bafiira mu nnyumba enjala wakati mu kulwanyisa Covid-19.

Lukwago akedde kulambula kizimbe

Mungeri y’emu agambye nti okumala gazimba olw’okutya okubayimiriza, y’emu ku nsonga lwaki ekizimbe kyagudde.

Lukwago alangiridde okunoonya omugagga Kiggundu ku misango gy’obutemu ssaako ne Bayinginiya, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.

Agamba okumala gazimba, okutta abantu, Kiggundu alina okuvunaanibwa.

Lukwago mu ngeri y’emu agambye nti satifiketi ekirizza Kiggundu okuzimba yakukusibwa okuva mu kitongole ki KCCA nga balina okunoonya, baani abakikola.

Eddoboozi lya Lukwago

Mu kiseera kino ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye bongedde okunyweza ebyokwerinda mu kifo awagudde ekizimbe.

Wabula abamu ku batuuze, batabukidde ebitongole byokwerinda okubalemesa okutaasa abantu abakyali wansi.

Abatuuze bagamba nti bakazuula emirambo 5 kyokka ebiriwo biraga nti abakozi baabadde bangi ddala omuli n’abakyala.

Omusasi waffe Nakaayi Rashidah bw’abadde awayamu n’abatuuze, bawanjagidde ebitongole byokwerinda okubakkiriza okunoonya abantu baabwe okusinga okubalemesa, nga bagamba nti emirambo gyaweddeyo.

Ate omwogezi w’ekitongole ki KCCA Daniel Nuwabiine agambye nti okunoonyereza okutegeera nannyini kizimbe ekyagudde kutandikiddewo.

Mungeri y’emu agambye nti n’okunoonyereza okuzuula ekyavuddeko ekizimbe okugwa, kutandiise.

Nuwabiine era agamba nti okuzimba ekiro mu ssaawa za Kafyu, y’emu ku nsonga lwaki abakozi ba KCCA, balemwa okuyimiriza ebizimbe ebizimbibwa.

Ate ebiva mu ggwanga erya Guinea, biraga nti abadde omukulembeze weggwanga eryo Alpha Condé yawambiddwa amaggye ne Gavumenti ye egiddwako.

Abawambi nga basinzira ku TV y’eggwanga, bategezeza nti Conde ali mikono gyabwe era Gavumenti eri mikono gyabwe.

Wabula Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda agamba nti amaggye, agakuuma omukulembeze w’eggwanga gaasobodde okutaasa obuyinza bwa Conde era abamu ku banammagye abenyigidde mu kulangirira nga bawambye obuyinza, baalira ku nsiko mu kiseera kino.

Wabula amaggye agawambye galaga nti Conde yakwattiddwa era mu kiseera kino ali mikono gyabwe Gavumenti ye yavunikiddwa dda.

Conde myaka 83 abadde omukulembeze w’eggwanga eryo, okuva mu December, 2010.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=43kSWsF8-YE