Kyaddaki Ssenga Kawomera avuddeyo ku bigambibwa nti abaana abawala balemeddwa obufumbo olw’okulemwa okusanyusa abasajja mu nsonga z’omu kisenge.

Mu ggwanga Uganda, abavubuka batya okuwasa ate n’abawala bagamba nti abasajja basukkiridde okuteekawo embeera, okubatiisa obufumbo olw’okubanja ebintu eby’enjawulo.

Mu kiseera kino wakati mu kulwanyisa Covid-19, abaana abangi abawala ku myaka emito, bafunye embutto oluvanyuma lw’okwegandanga n’abavubuka oba okusobezebwako abasajja abakulu.

Wabula Ssenga Kawomera agamba nti ebintu by’omu kisenge, byanjawulo nnyo n’omuntu yenna okwegatta n’omuntu yenna.

Ssenga Kawomera agamba omuntu yenna okunyumirwa ensonga z’omu kisenge, alina okukola okunoonyereza ku muganzi we mu mbeera yonna.

Lwaki embiibya y’omusajja y’ewa omukazi eky’okukola!

Ssenga Kawomera agamba nti buli mukyala yenna ategeera ensonga z’omu kisenge kyokka omusajja alina okuba omukugu ng’ategeera kyakola.

Agamba nti ekisooka, okunoonya omukyala kintu kikulu nnyo mu nsonga z’omu kisenge. Okunoonya omukyala kiyamba nnyo okwetekateeka okwaniriza omusajja, taapu okusumulula amazzi ssaako n’obukyala okuzimba, okwetegekera omusajja.

Ssenga Kawomera agamba nti singa omukyala yenna alumwa obukyala mu kiseera ky’okwegatta, kabonero akalaga nti omusajja yalemeddwa okumuteekateeka obulungi.

Omukyala singa afuna omusajja amunoonya obulungi, alina okukola sigino okulaga muganzi we nti kati ye ssaawa okumwaniriza mu kisaawe.

Mu kisaawe!

Ssenga Kawomera agamba nti omukyala ng’ali mu kisaawe, asobola bulungi nnyo okukola ebintu eby’enjawulo okuwa muganzi we ekiseera ekirungi.

Agamba nti embiibya y’omusajja y’ewa omukazi eky’okukola ku rawundi zonna.

Ssenga agamba nti singa omukyala afuna omusajja ategeera sitayiro ez’enjawulo mu kisenge, akaboozi kanyuma nnyo kuba ebintu bisigala bitambula bulungi nga temuli muzannyo.

Agamba nti, omukyala ayinza okutya okulaga bba nti ategeera sitayiro ez’enjawulo mu kaboozi era abamu bayinza okuzisirikira kyokka singa omusajja alaga nti naye mulungi nnyo mu by’omu kisenge, kiwa omukyala omukisa okwesumulula, okusobola okunyumisa omuzannyo.

Okwebuuza!

Ssenga Kawomera agamba nti abasajja okutya okwebuuza ku bantu ab’enjawulo omuli Bakojja y’emu ku nsonga lwaki balemeddwa okutegeera ebikwata ku nsonga z’omu kisenge kyokka nebekwasa abaana abawala nti tebategeera mukwano.