Munnamawulire John Cliff Wamala alaze nti ddala asajjakudde ng’alina okufuna omukyala amanyikiddwa ensi yonna.
Ku lunnaku Olwomukaaga nga 4, Ogwomwenda, 2021, Wamala yakyadde mu bazadde ba Saphira Nahabwe Rweizire ku kyalo Ngarama e Isingiro okumwanjula mu bazadde ku mukolo ogumanyiddwa nga ‘Kuhingira’.

Okwanjula kwabadde mu ngeri ya ‘Science’ olwa Covid-19 era yawerekeddwako mikwano gye omuli bannamawulire ku NTV Andrew Kyamagero ne Ali Mivule, Alex Esagala okuva mu Daily Monitor n’abalala.

Kigambibwa Wamala abadde ali mu laavu ne Saphira okuva mu 2014 nga bali ku Yunivaasite ku Uganda Christian University e Mukono bwe yali asoma diguli mu by’amawulire.
Wamala yasaba Saphira obufumbo omwaka oguwedde ogwa 2020 mu Desemba.

Wamala okulaga nti awonye abawala okulya ssente ze ngalina okufuna omukyala omutuufu, asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwebaza kabiite we Saphira okumwagala era agambye nti, “He who finds love. Thank you for loving me back“.