Kyaddaki Zari Hassan alaze lwaki mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala newankubadde akuliridde mu myaka.
Zari agamba nti yazaalibwa nga 23, Ogwomwenda, 1980 mu bitundu bye Jinja, Uganda nga mu kiseera kino alina emyaka 40.
Mukyala muzadde ng’alina abaana kyokka mu kiseera kino tekimanyiddwa oba alina omusajja oluvanyuma lw’okwawukana ne bba omuyimbi Diamond Platnumz.

Kigambibwa, wadde yali yayawukana ne Platnumz, omukwano gwaddamu dda nga yeerimbika ku ky’okutwala abaana okulaba ku kitaabwe.
Zari abaddeko mu laavu n’abasajja abenjawulo era okwekuumira ku mutindo, kimuyambye nnyo okwongera okusikiriza abasajja mu nsi ezenjawulo.

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ensi lwaki mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala.
Agamba nti mukyala alina erinnya, alina embala, alina ebirowoozo ku nsonga ez’enjawulo ate alina ebirooto bingi nnyo ate mukyala alina omukwano mungi nnyo, “I am alot. I’m alot of woman with alot of layers. Alot of personalities, characters, ideas, strategies and alot of dreams. Alot of emotions and alot of love. Yes, i am alot!“.
Y’omu ku bakyala abasiinga abagoberezi abangi ku mukutu ogwa Instagram mu Africa nga mu kiseera kino alina abantu 9,500,000.
Abamu ku bagoberezi be bakiriziganyizza naye nti ddala mukyala wanjawulo nnyo.
Zarinahnation – One woman against 100,000,000/- s*tupid pipo…..JESHIIII.
Miss_diva_kenya – my source of inspiration.
Abamu ku baana ba Zari kuli Zuleha Hassan, Abdul Karim Hassan, Asha Hassan, Zara Hassan n’abalala yazaalibwa Nasur Hassan, Halima Hassan.
Yazaalira Platnumz abaana oluvanyuma lw’okwawukana ne bba kati omugenzi Ivan Semwanga.
Ssemwanga yafa nga 25, May, 2017 mu ddwaaliro lya Steve Biko Academic Hospital mu kibuga Pretoria mu ggwanga erya South Africa.
Ssemwanga yali ne Zari okuva 2001 okutuusa 2013 era yamuzaalamu abaana omuli Pinto Semwanga, Dido Semwanga ne George Semwanga.
Yali azaalibwa George Semwanga Pinto Lutaaya ne Liize Semwanga.
Ssemwanga yaziikibwa mu disitulikiti y’e Kayunga, Yaziikibwa ku Lwokubiri nga 30, May, 2017.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1746417098875580