Kyaddaki munnakibiina ki NUP Muhammad Ssegirinya alangiriddwa mu butongole ng’omubaka we Kawempe North, oluvanyuma lwa kkooti enkulu mu Kampala, okugoba omusango gwa Sulaiman Kidandala ogw’ebyokulonda.
Kidandala, yaddukira mu kkooti enkulu mu Kampala ng’awakanya obuyigirize bwa Ssegirinya n’engeri gye yasunsulwamu akakiiko k’ebyokulonda nga yali yasaba kkooti, okusazaamu obuwanguzi bwe.
Mu kkooti, bannamateeka b’akakiiko k’ebyokulonda baludde nga basaba omulamuzi agobe omusango olwa Bannamateeka ba Kidandala, okulemwa okutegezaako Ssegirinya nti mu kkooti alina emisango gy’ebyokulonda, ng’omusango tegusobola kugenda mu maaso.
Enkya ya leero, amyuka omuwandiisi wa kkooti enkulu Alumu Agnes yasomye ensala ku lw’omulamuzi Wolayo Henrietta atasobodde kubeerawo.
Mu nsala, kkooti egambye nti Ssegirinya balemwa okumutegezaako mu butongole nti mu kkooti alina omusango era y’emu ku nsonga lwaki gugobeddwa.
Wabula bannamateeka ba Kidandala nga bakulembeddwamu munnamateeka Kenneth Paul Kakande, bagamba nti ekiddako, bagenda kujjulira.
Bano bagamba nti Ssegirinya mu kiseera ng’ali ku limanda mu kkomera e Kitalya, bamutegeeza nti mu kkooti alina emisango kyokka yagaana okuteeka omukono ku mpapula zaabwe.
Ssegirinya yali yakwattiddwa ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu, bwe yali yekalakaasa mu Kampala okusaba okuyimbula bannakibiina ki NUP abaali baakwattibwa mu biseera by’okulonda.
Ku lw’akakiiko k’ebyokulonda munnamateeka Erick Sabiiti abadde omusanyufu agambye nti kino kiwedde era essaawa okunywa ka ccaayi.
Sabiiti agamba nti bannamateeka ba Kidandala, baalemwa okweyambisa amakkubo agali mateeka, okutegeeza Ssegirinya nti mu kkooti alina emisango gy’ebyokulonda era y’emu ku nsonga lwaki bawangudde omusango.
Oluvanyuma lw’ensala ya kkooti okusomebwa, Kidandala alabiddwako ng’asobeddwa era amangu ddala adduse mu kkooti okwewala bannamawulire.
Ebiwandiiko bya Ssegirinya!
Mu biwandiiko ebyava mu kitongole ky’ebigezo ekya Uganda National Examinations Board (UNEB), biraga nti mu ebigezo bya S4 mu 2007 ku Index Number U0053/054, Ssegirinya agamba nti yabikolera mu Pimbas Secondary School ate ebiri mu UNEB biraga nti Index Number eyo ya muwala Sarah Nampiima eyatuulira ebigezo mu Mengo Secondary School.
Ate ebya S6, ebiwandiiko bye biraga nti S6 yagituulira ku Index Number UOO54/754 mu ssomero lya Pimbas S.S mu 2009, ebya UNEB biraga nti eyatuulira mu nnamba eyo ye Maureen Nabadda era nga naye yatuulira ebigezo mu Mengo Secondary School mu Kampala.
Ebyava mu UNEB!
Mu ngeri y’emu UNEB egamba nti ennamba U0054 ya Mengo Secondary School, ssi Pimbas Secondary School wabula agamba nti alina ebiwandiiko ebituufu era alinze kubyanjulira kkooti.
Ebyava mu Kulonda!
Mu kulonda nga 14, Janwali, 2021, Ssegirinya eyali alina kaadi ya National Unity Platform (NUP) yakawangulira waggulu n’obululu 41,197 n’addirirwa Kidandala eyafuna obululu 7,512. Tom Fisher Kasenge owa National Resistance Movement (NRM) yakwata kyakusatu n’obululu 6,946 ate Latif Ssebaggala Ssengendo eyali akiikirira ekitundu ekyo mu Palamenti n’akwata kyakuna n’obululu 3,919.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/1746417098875580