Omuyimbi Diamond Platnumz ayongedde okulaga nti kati mu Tanzania y’omu ku bakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba, East Africa ne Africa yonna.
Musajja alina talenti era mu kiseera kino y’omu ku bayimbi mu Africa abateeka ssente mu nnyimba n’okusingira ddala okukola vidiyo z’ennyimba.
Bwe yabadde akwata vidiyo y’oluyimba ‘Naanzaje’, Platnumz yasobodde okweyambisa abawala abenjawulo kuba oluyimba lwa mukwano era vidiyo mulimu ebyana eby’enjawulo.
Wadde yasobodde okufuna ebyana ebyenjawulo, bwe yabadde ku lyato, waliwo ekyama ekyamwewadde ne kimwerabiza omukwano gwa Zari Hassan ne Tanasha Donna abaali bakyala be.
Ezimu ku nnyimba ezifudde Platnumz omuyimbi ow’enjawulo mwe muli Jeje, Waah, Inama, Sikomi, Iyena, Marry You, Baba Lao n’endala.
VIDIYO!
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/187201736815918