Omulenzi asigadde asobeddwa, omuwala bw’agaanye empeta ya muganzi ebadde esaba obufumbo.
Mu nsi y’omukwano, omuntu yenna asaba obufumbo, alina okufukamira wansi okusaba muganzi we era kabonero akalaga nti ddala omuntu omwagala.

Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Instagram, omulenzi yafukamidde wansi okusaba muganzi we obufumbo wabula omuwala yagaanye era yatambudde navaawo.

Omuwala bwe yabadde atambula okuvaawo, mikwano gy’omulenzi gy’amusabye okudda wabula yagaanye.

Embeera eno yabadde mu ggwanga erya Nigeria.

Vidiyo