Aba bodaboda babiri (2) battiddwa mu kibuga kye Masaka.
Emirambo gisangiddwa gisuuliddwa mu nsiko ku kyalo Kyabumba mu ggoombolola y’e Buwanga mu disitulikiti y’e Masaka.
Daniel Kimbugwe, amyuka ssentebe w’eggombolola y’e Buwunga, emirambo girabiddwa omulaalo era amangu ddala asobodde okutegeeza ku batuuze ne Poliisi.
Kimbugwe agamba nti omu ku battiddwa ye Huzaifah Mawanda era yabula sabiiti nga bbiri (2) eziyise.
Ate omulambo Ogw’okubiri, abatuuze tebamanyi bimukwatako.
Kimbubgwe agamba nti kiteeberezebwa okuba nga battibwa ababbi ne batwala Pikipiki zaabwe era bazudde ennyondo egambibwa okweyambisibwa mu kubatta.
Patrick Kefeero, owa bodaboda mu tawuni y’e Masaka agamba nti Mawanda abadde memba mu kibiina kyabwe era abadde akolera ku Kyabakuza siteegi mu tawuni y’e Masaka.
Agamba nti Mawanda azuuliddwa ng’ali mu ngoye zeyali ayambadde ku lunnaku lwe basemba okumulabako.
Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bendebendo lya Masaka agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza okuzuula abatemu.
Agamba nti ennyondo ezuuliddwa, eyinza okubayambako okuzuula ekituufu.
Mungeri y’emu alabudde abali mulimu gwa bodaboda okwewala okuvuga abantu mu ssaawa za kafyu kuba y’emu ku nsonga lwaki battibwa ne batwala Pikipiki.
Mu kiseera kino Masaka eri mu kulwanyisa ekitta abantu omuli abatemu okweyambisa ebigambibwa okuba ebiso okutematema abatuuze n’okusingira ddala abakadde omuli n’okweyambisa obutayimbwa.
Mu kiseera kino Poliisi erina abantu abasukka 20 abali ku limanda makkomera agenjawulo abali ku misango gy’okutta abantu e Masaka.
Abakwate mwe muli bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) Allan Ssewanyana, omubaka we Makindye West ssaako ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North abali ku limanda mu kkomera e Kigo.
Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, Ssegirinya, Ssewanyana n’abalala, batuula ku Happy Boys, Kalenda ssaako ne Kayanja Rest House mu Kampala, okuteesa ku ngeri y’okutta abantu e Masaka.
Mu Gwomunaana, 2021 ku kyalo Setaala, Kimanya Kabonera e Masaka, Ssegirinya ne Ssewanyana benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka.
Mu bitundu ebyo abantu abasukka 20 battiddwa okuva nga 21, Ogwomusanvu, 2021.
Ebirala ebiga mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/380151400333905