Kkooti e Masaka ewuninkiridde, bannakibiina ki NUP Allan Ssewanyana akiikirira abantu be Makindye West ne Muhammad Ssegirinya owe Kawempe North, nga baguddwako emisango emiggya.
Ssegirinya ne Ssewanyana sabiiti ewedde, bagulwako emisango 4 ng’esatu (3) gya butemu ate omusango gumu (1), gezaako kutta muntu, ku kitta bantu ku kyalo Ssetaala ne Ssenya e Kimanya-Kabonera mu kibuga kye Masaka, omwezi oguwedde Ogwomunaana.
Okuva sabiiti ewedde, bali ku limanda mu kkomera e Kigo wabula enkya ya leero, bazzeemu okusimbibwa mu kkooti y’omulamuzi asookerwako e Masaka Grace Wakooli era baguddwako n’omusango omulala Ogw’okulya mu nsi olukwe n’okuwagira ebikolwa eby’ekitujju.
Ssegirinya ne Ssewanyana basinzidde Kigo era kkooti, esobodde okweyambisa enkola ya ‘Zoom’, okuwulira emisango gyabwe, nga ku misango gy’okulya mu nsi olukwe bavunaanibwa ne Mike Sserwadda, Jude Mawanda, Buro Wamala ssaako ne John Mugerwa abali ku limanda mu kkomera e Kitalya ku misango gy’obutemu.

Okusinzira ku ludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, Ssegirinya ne Ssewanyana wakati w’omwezi ogwa Janwali n’Ogwomunaana, 2021 benyigira, mu bikolwa by’okulya mu nsi olukwe.
Kigambibwa ng’abasinzira mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo n’ekigendererwa eky’okutiisatiisa abantu nga berimbise mu byobufuzi, eddini, benyigira mu kutta abantu n’okugezaako okutta abantu.
Oludda oluwaabi, lugamba nti lukyanoonyereza ku misango gyonna era Ssegirinya ne Ssewanyana tebakkiriziddwa kwogera kigambo kyonna nga bali ku misango gya naggomola, balina kulinda kkooti nkulu.
Bonna baziddwa ku limanda okutuusa nga 29 omwezi guno, Ogwomwenda era kkooti egamba nti bakyali mu bbanga ery’emyezi omukaaga (6) egiweebwa oludda oluwaabi, okufundikira okunoonyereza.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka waabwe era omubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende avumiridde eky’ebitongole ebikuuma ddembe okutyoboola eddembe ly’obuntu ku bantu abakwattiddwa nga berimbika mu kunoonyereza.
Malende mungeri y’emu asigadde awuniinkiridde eky’abantu be okubaggulako emisango emiggya egy’okulya mu nsi olukwe.
Kigambibwa benyigira mu kutta Sulaiman Kakooza, Michael Kiza Nswa ne Tadeo Kiyimba ate Robert Ssebyato, wadde baamutema kyokka yasimatukka okufa.
Wabula munnamateeka Abubaker Ssekanjako okuva mu Lukwago and Company Advocates, yaddukidde mu kkooti enkulu e Masaka, okusaba omulamuzi abantu baabwe okweyimirirwa.
Mu kusaba, bawadde ensonga mukaaga (6) omulamuzi kw’ayinza okusinzira okuyimbula abantu baabwe omuli okuba nti balwadde, balina okukiikirira abantu baabwe nga n’emisango bakyanoonyereza.
Kkooti, yawadde sabiiti ejja ku Mmande nga 20, omwezi guno Ogwomwenda, okuwuliriza okusaba kwabwe era kwaweereddwa omulamuzi Victoria Nakintu Katamba owa kkooti enkulu e Masaka.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/369426654778845