Omuyimbi Winnie Nwagi asabbalaza abasajja ku mukutu gwe ogwa Instagram era bangi bakkiriza nti ddala omwana alina Work.
Mu Uganda, Nwagi kati y’omu ku bayimbi abakyala abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba kyokka wadde mu kiseera kino omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yayimirizza ebivvulu okusobola okulwanyisa Covid-19, Nwagi alaze nti ye alina okusigala mu maaso ga bawagizi be.
Nwagi asobodde okukuuma omubiri nga kivudde ku dduyiro. Y’omu ku bakyala abagenda mu ggiimu buli lunnaku era kimuyambye okukuuma omubiri n’okwekuumira ku mutindo.

Olw’ennyimba ze omuli Jangu, Kwata essimu, Fire Dancer, Kano Koze, Mataala, Kibulamu n’endala, ayongedde okufuna abawagizi n’okusingira ddala abasajja nga bagamba nti omwana alina ekitone.
Nwagi y’omu ku bayimbi abasobodde okufuna abawagizi abenjawulo okuva ku mikutu migatta bantu omuli Face Book, Instagram n’endala olw’okuteekayo vidiyo n’ebifaananyi nga bakola ebintu ebyenjawulo.
Wosomera bino ng’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu, Nwagi yatadde vidiyo ku Instagram kyokka bangi ku bagoberezi be abasajja, baasigadde basabbaladde.

Mu vidiyo, Nwagi yabadde ali kwekolako ng’omukyala omulala yenna okusobola okulabika obulungi wabula yabadde mu kapale akampi n’akaleega.
Embeera gye yabaddemu, bangi ku basajja yabalese basobeddwa nga bagamba nti bakooye okubasabbalaza buli lunnaku.
Eky’okulabirako
Daviddav8405 – Naye nwaggi nyabo gwe onoba otuyimisa buli morning tukelela kubusabuni nononono your bad girl dear
Rechorey – Sexy mummy
Kisfra_ug – Mummy sabula tugende
Ttallonekellz – Team zooming mugiwulira
Vidiyo!