Omusajja ali mu gy’obukulu 40 akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana wa neyiba we ku luguudo lwe Ejekwu mu bitundu bye Wike Rumuepirikom mu ssaza lye Rivers mu ggwanga erya Nigeria.
Okusinzira ku Ambasadda Samuel Hope Ezemuri, omwana yasobezeddwako akawungeezi k’olunnaku Olwokuna, nga 16, Ogwomwenda, 2021.
Kigambibwa omwana yabadde mu Kompawundi ng’ali ne banne bazannya era omusajja yasobodde okweyambisa bisikwiti okulimbalimba omwana okumutwala mu kaziko ke.
Omu ku batuuze neyiba yakubye enduulu eyasombodde abantu omuli ne maama w’abaana.
Omusajja yasangiddwa mu kazigo nga yenna ali bwereere nga n’omwana ali mu maziga oluvanyuma lw’okusobezebwako.
Omusajja oluvanyuma lw’okukwatibwa, yatwaliddwa ku Poliisi y’e Rumuepirikom ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.