Maama Nampiima Pauline nga mutuuze we Nsangi – Buwaali mu disitulikiti y’e Wakiso ali maziga, olw’omusomesa okusobya ku mwana we myaka 9 (amannya gasirikiddwa).

Nampiima agamba nti wakati mu kulwanyisa Covid-19 ng’amasomero maggale, yafuna omusomesa Wilson Tulyahikayo ali mu gy’obukulu 30, okuyambako mu kusomesa omwana we.

Omwana ku myaka 9 abadde yakasoma sabiiti satu (3) zokka nga buli wiiki, omusomesa abaggyako ssente 25,000 ku Elyon Kindergarten and primary school e Nsangi.

Wakati mu kulukusa amaziga, maama Nampiima agamba nti omwana we yasobezebwako sabiiti ewedde ku Lwokutaano kyokka omusomesa yamusuubiza okumutusaako obulabe singa ategezaako omuntu yenna.

Omwana eyabadde mu maziga, yasobodde okutegeeza ku nnyina embeera eyabaddewo era omusomesa yakwattiddwa dda, Poliisi y’e Nsangi.

Wabula maama Nampiima asobodde okuddukira ku Poliisi y’e Katwe, okusaba omusango gwe, okuva ku Poliisi e Nsangi olw’okutya nti ayinza obutafuna mazima na bwenkanya.

Nampiima agamba nti abamu ku basirikale ku Poliisi y’e Nsangi bagamba nti abadde mu laavu n’omusomesa Tulyahikayo kyokka olw’obutakaanya wakati we n’omusomesa, mbu y’emu ku nsonga lwaki agamba nti yasobeza ku mwana we.

Asabye abakulembeze bonna okuvaayo okuyamba kuba yetaaga obwenkanya olw’omwana we okusobezebwaako nga yetaaga  okubudabudibwa mu kiseera kino.

Mungeri y’emu Maama Nampiima awanjagidde omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni okuyamba abaana okudda ku massomero okutaasa ebikolwa ng’ebyo, ebyeyongedde ku baana baabwe.

Nampiima agamba nti olw’okunoonya abasomesa abayinza okubangula ku baana baabwe mu kiseera kino, y’emu ku nsonga lwaki omwana we yasobezeddwako.

Ku nsonga ezo, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agumizza maama Nampiima nti Poliisi ensonga egikwasizza maanyi.

Owoyesigyire agamba nti fayiro y’omusango yasindikiddwa eri omuwaabi wa Gavumenti okuwabula ekitongola kya Poliisi ku kiddako.

Mungeri y’emu asabye maama Nampiima okweyambisa amakubo amatuufu bw’aba alina okwemulugunya ku nsonga yonna.

Poliisi mu disitulikiti y’e Kyotera ekutte abantu babiri (2) ku misango gy’okutta omwana myaka munaana (8).

Omwana Francis Kateregga yattiddwa ku ssaawa nga 4 ez’ekiro, ekikeseza olwaleero ku kyalo Nakatoogo-Bikunya mu ggoombolola y’e Kabira mu disitulikiti y’e Kyotera.

Kigambibwa omwana Kateregga yabadde egenze wa neyiba okulaba akazannyo ku Ttiivi wabula teyakomyewo.

Okusinzira ku ssentebe wa LC 3 mu ggoombolola y’e Kabira, omulambo gw’omwana guzuuliddwa emisana ga  leero mu kibira okumpi n’awaka, oluvanyuma lw’abatuuze okusimba ensiko okumala essaawa eziwera.

Abatuuze bagamba nti omwana yatemeddwa omutwe ne batwala obwongo ssaako n’okulembeka omusaayi ne bagutwala.

Wabula addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Kyotera Sande Mubarak, agamba nti Poliisi ekutte abantu babiri (2) okuyambako mu kunoonyereza.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.facebook.com/GalaxyFm1002/videos/188364973401225