Poliisi y’e Kiira etandiise okunoonya abazannyi abawala aba ttimu y’eggwanga erya Eritrea abali wansi w’emyaka 20 abadduse mu nkambi.
Abawala bano, abali wakati w’emyaka 16 – 19, badduse nga busasaana enkya ya leero ku Lwokubiri, okuva ku Sunset Hotel International mu kibuga kye Jinja.
Mu Uganda, baggya mu mpaka z’okusamba omupiira gw’ebigere, ezatandika nga 30, omwezi oguwedde ogwa October, nga zakutambula okutuusa nga 9, omwezi guno ogwa November.
Wabula James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira, agambye nti Poliisi yegatiddwako ekibiina, ekifuga omupiira gw’ebigera mu Uganda ekya ‘FUFA’ ssaako n’abakungu, abakulembeddemu okuleeta ttiimu ya Eritrea, okunoonya abadduse mu nkambi.
Abanoonyezebwa kuliko Yisehaq Liwam Solomon 16, Mohammed Yordanos Abraham 17, Raka Shamat Futsum 18, Kahsay Rahel Michael 18 ne Knfu Trhas Habate 19.
Wabula omu ku bakozi ku Hotel agaanye okwatuukiriza amannya ge, agamba nti okwekebejja Kamera okuzuula engeri abazannyi gye bafulumye, kutandiika essaawa yonna.