Omuyimbi Feffe Bussi abikudde ebyama lwaki mu Uganda y’omu ku bayimbi abasinga okuyimba Hip Hop wadde bangi ku bayimbi banne bazalawa.
Feffe Bussi bw’abadde ku 100.2 Galaxy FM mu pulogulamu Morning Saga enkya ya leero, agambye nti omuyimbi Gravity Omutujju y’omu ku bantu bawandikidde ennyimba kyoka alemeddwa okumanyika mu nsi yonna.
Omuyimbi Feffe Bussi anokoddeyo ennyimba ezenjawulo omuli Winner, Walumbe Zaaya n’endala zeyawandikira Gravity Omutujju kyoka nalemwa okuziyimba obulungi.
Mungeri y’emu agambye nti abayimbi bonna mikwano gye n’okusingira ddala Fik Fameica kyoka mu Uganda yasiinga okuyimba Hip Hop.