Kyaddaki omuyimbi Lydia Jazmine avuddeyo ku bigambibwa nti lwaki aluddewo okufuna omusajja okufumbirwa.
Jazmine agamba nti ali mu myaka 30 wabula bangi ku bannayuganda bagamba nti kano kekadde akatuufu, okufuna omusajja okuva ku mudaala gwa banoonya.
Wabula Jazmine bw’abadde ku mukutu gwa ‘Twitter Space’ ku 100.2 Galaxy Fm Zzina, ayanukudde abazinnyi bonna abagamba nti alina okufuna omusajja n’okumulaga abawagizi be.

Jazmine agambye nti obufumbo kuba kusalawo kw’amuntu era obutaba mufumbo, tekitegeeza nti tewali basajja bamusaba mufumbo wabula singa akaseera akatuufu katuuka, aggya kufumbirwa, “Marriage is all about choices, not being married doesn’t mean that there are no guys that want to marry me. When I wake up tomorrow and I want to get married, i will get married”.
Mungeri y’emu agambye nti abantu balina okukomya okubuuza abantu bafumbirwa dda. Agamba mu bulamu waliwo ebintu ebisinga omuli okuba omusanyufu n’okukola ssente. Agamba nti ye yetaaga ssente okusinga okufumbirwa, “You guys need to stop asking people when they are getting married. There are things that are more important in life like being happy and making more money. If I were to choose between marriage and making money, I will go with the money“.