
Ssenkulu wa Bryan White Foundation omugagga Brian Kirumira amanyikiddwa nga Bryan White ayongedde okulaga eswagga nti y’omu ku bantu abalina ssente era abalina omutima oguyamba abalala.
Bryan White olunnaku olw’eggulo ku Ssande y’omu ku bantu abalaze ssente ku mukolo gwa Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya-Turomwe era bangi ku bakiriza bavuddeyo bakiriza.

Minisita Kamya yategese okusaba okwenjawulo ku kkanisa ya Martyrs Church e Nateeta okwebaza omutonzi obwa Minisita, obulamu bwa nnyina Margaret Kamya okuweza emyaka 85, okujjukira obulamu bwa kitaawe Col George Wilson Kamya eyafa mu 1973 ne bba omugenzi Spencer Turwomwe eyafa emyaka 15 egyakayita.

Ku mukulo, kwabaddeko okusonda ensimbi okuzimba e Kanisa era Pulezidenti Museveni yawaddeyo bbiriyooni ya ssente emu, Minisita Kamya obukadde 30, Bryan White obukadde bwa ssente 8 n’abalala.
https://www.youtube.com/watch?v=TrAkMd7OqA4
