Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu disitulikiti y’e Kayunga, okutangira omuntu yenna ayinza okukyankalanya okukyala kwa ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni.
Museveni agenda Kayunga okunoonyeza munnakibiina Andrew Muwonge omu ku besimbyewo ku bwa ssentebe wa LC 5.
Kampeyini zikomekerezebwa lwaleero, enkya ku Lwokusatu kuwumula ate ku Lwokuna, abalonzi balonda ssentebe agenda okudda mu bigere bya Muhammad Ffeffekka Serubogo, eyasangibwa nga yetugidde ku muti gwa ffene nga 16, Ogwomukaaga, 2021.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/12/fefefe.png)
Mu kiseera kino Poliisi n’amaggyye beyongedde obungi mu disitulikiti y’e Kayunga wakati mu kulinda Pulezidenti Museveni mu Kampeyini za Muwonge.
Lwaki ebyokwerinda binywezeddwa nnyo!
Okusinzira ku mubaka wa Pulezidenti mu disitulikiti y’e Kayunga (RDC) Ssempala Kigozi, Pulezidenti muntu wanjawulo nnyo era okugenda mu kitundu kyonna, ebyokwerinda birina okunywezebwa.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/12/President-Yoweri-Kaguta-Museveni.jpg)
Kigozi agamba nti balina okunyweza ebyokwerinda okutangira omuntu yenna ayinza okutuusa obulabe ku Pulezidenti Museveni.
Aba NUP Bakaaba!
Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) alemeseddwa okugenda mu disitulikiti y’e Kayunga olunnaku olwaleero, okunoonya akalulu k’omukyala Harriet Nakwede.
Nakwede akutte kaadi y’ekibiina ki NUP ku bwa LC 5 e Kayunga era olunnaku olwaleero abadde asuubira Bobi Wine okumusabira akalulu.
Mu kiseera kino Poliisi n’amaggye gayiiriddwa mu bungi e Magere mu disitulikiti y’e Wakiso, okulemesa Bobi Wine okufuluma amakaage okugenda e Kayunga.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/12/NUP.png)
Emisanvu giteekeddwa mu kkubo, okulemesa omuntu yenna okugenda mu maka ga Bobi Wine n’okulemesa Bobi Wine okuvaayo.
Omubaka we Makindye East Derrick Nyeko y’omu ku balemeseddwa okugenda mu maka ga Bobi Wine olw’ensonga y’ebyokwerinda.
Emmotoka ya NUP okutambulira emizindaalo ekwatiddwa!
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Ssezibwa, Hellen Butoto, emmotoka yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande.
![](https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2021/12/emmo.png)
Butoto agamba nti emmotoka yakwattiddwa ku ssaawa nga 2 ez’ekiro ekikeesezza olwaleero mu ssaawa za Kafyu.
Wabula Nakwede agamba nti Poliisi yakutte emmotoka ye, okusobola okutaataganya Kampeyini ze olwaleero.
Mu kiseera kino bbaasi za NRM zeyongedde mu bitundu bye Kayunga mu Kampeyini ezisembayo wabula aba NUP bagamba nti okulemesa Bobi Wine okugenda e Kayunga kityoboola sseemateeka wa Uganda n’eddembe ly’obuntu.
Abali mu kalulu kuliko Muwonge owa NRM party, Nakwede owa NUP, Anthony Waddimba owa Democratic Party-DP.
Abalala besimbyewo nga bayindipendenti kuliko Boniface Bandikubi, Majid Nyanzi ne Jamil Kamoga.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-5QSw9Yj734