Omuddumizi w’amagye mu ggwanga alonze Brig Gen Felix Kulayigye okudda mu bigere bya Brig Gen Flavia Byekwaso ng’omwogezi w’ekitongole ky’amaggye.

Brig Gen Byekwaso yasindikiddwa ku ttendekero ly’ebyokwerinda erya National Defence College Uganda.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi w’ekitongole eky’amaggye Lt. Col Ronald Kakurungu, Brig Gen Kulayigye alagiddwa okutandikirawo emirimu, “Brig Gen Felix Kulayigye has been appointed Defence Spokesperson, replacing Brig Gen Flavia Byekwaso currently attending National Defence College Uganda. We welcome back Gen Kulayigye to the Office of Defence Spokesperson“.

Kulayigye yazaalibwa mu 1964, omusajja Fredrick Semichacha n’omukyala Regina Abagirinka e Gayaza mu disitulikiti y’e Masaka wabula oluvanyuma famire yasengukira mu disitulikiti y’e Kisoro nga mu kiseera kino y’e disitulikiti y’e Bukomansimbi.
Mu famire y’abaana omwenda (9), ye mwana asembayo.
Maama Abagirinka yafa nga Kulayigye akyali mwana muto nnyo.
Yasomera ku massomero okuli St. Herman Nkoni Boys’ Primary School e Masaka, Kabalega Secondary School S4 ne Kololo High School S6 oluvanyuma yagenda ku Yunivasite e Makerere okusoma diguli mu busomesa.
Mu 1989 yayingira amaggye. Wakati wa 2005 – 2013 yali mwogezi w’amaggye ate mu 2016, yalondebwa ng’omu ku babaka abakiikirira amaggye mu Palamenti y’e 10 okuva 2016 – 2021.
Mu February 2019, yakuzibwa mu maggye okuva ku Colonel okudda Brigadier.
Kulayigye musajja mufumbo era mukyala we ye Justine Bagonza nga balina abaana okuli abawala basatu (3) n’abalenzi (2).