Kyaddaki Poliisi e Nansana ekutte omubbi, abadde akulemberamu akabinja ka babbi, abaludde nga benyigira mu kutigomya abatuuze.

Ssozi Derrick myaka 20 nga mutuuze ku kyalo Kisumu mu ggoombolola y’e Nabweru, Nansana mu disitulikiti y’e Wakiso yakwattiddwa, nga kivudde ku batuuze okutemya ku bitongole ebikuuma ddembe.

Ssozi akwattiddwa ng’alina ensawo era mu kwekebejja ensawo musangiddwamu ejjambiya ng’ezingiddwa mu lugoye olumyufu, obwambe 2, ennyondo 2 ssaako n’ebintu ebirala nga n’ensawo, kiteeberezebwa nti ebadde nzibe mu bitundu bye Nansana.

Ebintu omuli ejjambiya

Mungeri y’emu abasirikale mu kwekebejja ennyumba ya Ssozi, musangiddwamu ebintu ebiteeberezebwa okuba ebibbe omuli Ttivi 2, wuufa 2, faani 2, ebisumuluzo eby’enjawulo (master keys), essimu ya smartphone emu (1), ssente miriyoni 4,050,000 ssaako n’ebintu ebirala nga biri mu ssente miriyoni 13.

Poliisi era ezudde mu nnyumba ya Ssozi Pikipiki 2 ezigambibwa okubeera enzibe UFA 513J ne UFL 408A, ebyuma ebikozesebwa mu kumenya amayumba, Pawundi za South Sudan eza 50, 50 nga ziri 5, ssente za Kenya, amassimu ga 5 aga infinix Hot 10, Firiigi ssaako n’ebintu ebirala.

Bodaboda ezigambibwa okuba enzibe

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti omukwate atwaliddwa ku Poliisi y’e Nansana nga n’okunoonya akabondo ka Ssozi, kutandikiddewo.

Ate Poliisi y’e Kawempe ekutte abantu 4 ku misango gy’okubba n’okusobya ku mukyala myaka 23, omutuuze mu zzooni y’e Kitambuza mu Divizoni y’e Kawempe.

Omukyala ono, (amannya gasirikiddwa) yalumbiddwa abasajja nga bakutte ejjambiya ku ssaawa nga 6 ez’ekiro, ekyakeesezza olunnaku olw’eggulo ku Mande.

Omukyala ono, nga asula yekka mu nnyumba, abasajja amangu ddala nga bayingidde, benyigidde mu kubba ebintu eby’enjawulo, oluvanyuma batendewaliddwa ne badda mu kumusobyako.

Wabula Poliisi y’e Kawempe, yasobodde okweyambisa embwa ezikonga olusu, okutuusa ku nnyumba, abazigu mwebasangiddwa.

Omukyala ali mu maziga

Abakwate kuliko Katabi Joseph, Sserwada Mike, Musana John eyasangiddwa ng’ali w’aggulu mu siiringi yekwese ssaako ne Musunguzi.

Poliisi mu kwekebejja enju yaabwe, yazudde ebyambe, ejjambiya, ebintu omuli enjaga era mu kiseera kino abakwate, bali ku kitebe kya Poliisi e Kawempe.

Omukyala yabiddwako ssente emitwalo 850,000, essimu ssaako Laptop era agamba nti ababbi bayingidde mu nnyumba nga bali babiri (2).

Wabula Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso nga ne Asikaali akuuma ku ggeeti akwattiddwa mu kunoonyereza kwabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=LeBGrgjTOnM