Munnamawulire Sheila Nduhukire myaka 28 avudde ku NTV uganda esangibwa ku Serena Hotel mu Kampala.
Kigambibwa Sheila avudde ku NTV uganda okwegata ku NTV Kenya mu kibuga Nairobi.
NTV uganda ne NTV Kenya zonna ziri wansi wa kampuni emu Nation Media Group (NMG) eyatandikibwawo Aga Khan IV mu 1959.
Sheila Nduhukire okwegata ku NTV Kenya kigenda kutataganya NTV uganda ku bantu abalina okusoma amawulire ku ttiivi.
Nduhukire yali muyizi ku Mbarara University of Science and Technology (MUST) era yaliko Pulezidenti w’abayizi (Guild President).
Ebisingawo ku nsonga eyo, birindirire.