Ebitongole ebikuuma ddembe okuli Poliisi n’amaggye, bali mu kunoonya akabinja ka babbi, abalumbye edduuka eritunda ebizimbisibwa erya Bulenga Hardware Shop e Bulenga mu disitulikiti y’e Wakiso ne banyaga ssente obukadde 9, Pikipiki ne batwala emmundu ya Asikaali ssaako n’okuleka abakuumi nga basibiddwa emiguwa.
Obunyazi, bukoleddwa ku ssaawa nga 9 ez’ekiro ekikeeseza lwaleero ku Lwokuna era abasirikale basobodde okweyambisa embwa ezikonga olussu okuzuula emmundu ya Asikaali, eyabadde etwaliddwa.
Embwa, esobodde okulembera abasirikale okuva e Bulenga ku Bulenga Hardware Shop okutuuka ku kyalo Nakuwadde era mu disitulikiti y’e Wakiso kwe kuzuula emmundu mu maka g’omu ku batuuze era omuntu omu akwattiddwa, okuyambako mu kunoonyereza.
Wabula Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe, bikyanoonya ababbi bonna, abenyigidde mu kikolwa ekyo, abaliira ku nsiko mu kiseera kino.
Mu kwekebejja emmundu, Onyango agamba nti musangiddwamu amasasi 4 era mu kiseera kino eri mu mikono gyabwe.
Basikaali abasibiddwa emiguwa kuliko Mukundane Emmanuel myaka 20 ne Ogwang Lawrence myaka 45 okuva mu kitongole ekikuumi ekya Team Security Group e Bulenga ate owa bodaboda ye Bwire Yusuf ali myaka 30 nga naye mutuuze we Bulenga Kikaaya mu ggoombolola y’e Nakabugo era mu disitulikiti y’e Wakiso.
Onyango agamba nti Bwire yabadde atutte Pikipiki mu pakingi, ababbi kwe kumusalako ne bamusiba emiguwa wamu ne basikaali.
Mu Kampala, obubbi bweyongedde omuli ababbi okulumba amasundiro g’amafuta, Supermarket, okulumba Basikaali mu bifo eby’enjawulo okubba emmundu wabula ebitongole ebikuuma ddembe, byongedde okunyweza ebyokwerinda.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=4WABbjsCWA8&t=65s