Abakulembeze mu disitulikiti y’e Mubende bayimiriza ebivvulu byonna mu kitundu nga kivudde ku kirwadde kya Ebola ekyazuuliddwa mu kitundu kyabwe.
Mu bivvulu ebiyimiriziddwa mwe muli ne Kabisi Kandagala ekya David Lutalo.
Okusinzira ku Resident District Commissioner (RDC) we Mubende Rosemary Byabashaija, abantu okugenda mu bivvulu kiyinza okutambuza Ebola nga y’emu ku nsonga lwaki byonna biyimiriziddwa.
RDC Byabashaija agamba nti David Lutalo waddembe okutekateeka ekivvulu e Mubende essaawa yonna naye kati bali ku lutalo lwa kulwanyisa Ebola mu kitundu, okutaasa obulamu bw’abantu.
Ku lunnaku Lwokubiri, Gavumenti yalangiridde nti Uganda yalumbiddwa ekirwadde kya Ebola oluvanyuma lw’omusajja myaka 24 okufa ku Mmande mu ddwaaliro ekkulu e Mubende.
Okusinzira ku muwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ebyobulamu Dr. Diana Atwine, omusajja eyasooka okufa yabadde mutuuze ku kyalo Ngabano mu ggoombolola Madudu mu disitulikiti y’e Mubende.
Dr. Atwine ng’omusawo omutendeke, yawanjagidde bannayuganda okwegata mu kulwanyisa Ebola, okumutangira okusasaana era abasawo bazudde abantu ab’enjawulo nga balwadde.
Ekirwadde kya Ebola, kireeta omusujja, okuggwamu amaanyi mu mubiri, okulumwa ennyingo, okutanaka, embiro saako n’amabwa mu bulago era Dr. Atwine yasabye abantu okweyambisa amalwaliro agali mu bitundu byabwe singa bafuna omulwadde yenna ng’ali mu mbeera bwetyo.
Wadde ekivvulu kya David Lutalo e Mubende kyayimiriziddwa, olunnaku olwaleero ku Lwokutaano, alina Konsati ku Africana mu Kampala era bambi tumwagaliza ekivvulu ekirungi.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=XHiO5LiMnAM