Oludda oluwaabi mu ggwanga erya Rwanda ku misango egivunaanibwa Kagame Ishimwe Dieudonne, bawanjagidde omulamuzi okusiba Ishimwe emyaka egisukka 16.
Ishimwe ali ku misango gy’okudda ku baana abawala abali bavuddeyo okuvuganya ku mpaka za Nalulungi wa Rwanda, okubatigaatiga, okubakaka omukwano mu kiseera nga bali mu kambi wakati mu kuvuganya mbu yasikirizibwa olw’endabika yaabwe.
Ishimwe yakwatibwa mu Gwokutaano, guno omwaka 2022 era amangu ddala empaka za Miss Rwanda zaayimirizibwa.
Wadde mu kkooti emisango gyonna yagyegaana, oludda oluwaabi lugamba nti obujjulizi bwonna bulaga nti emisango aludde nga agyenyigiramu.
Mungeri y’emu oludda oluwaabi lusabye omulamuzi, emisango okuwulirwa mu lujjudde, bannansi okutegeera ebigenda mu maaso mu kkooti okusinga okuwulirwa mu kasenge, bannamawulire n’abantu bonna gye batakkirizibwa.
Kkooti esuubirwa okuwa ensala yaayo, omwezi guno ogw’ekkumi nga tegunnagwako.
Kigambibwa bangi ku baana abawala wadde bavuddeyo okuwa obujjulizi, batya okuvaayo mu lujjudde.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q