Bella….
Kyaddaki omuyimbi Bella Myra ayongedde okulaga nti ddala alina talenti.
Myra ng’ali mu myaka 25 y’omu ku bayimbi abato abaliko mu kiseera kino mu kuyimba ennyimba n’okusingira ddala ez’omukwano.
Mu luyimba olupya “Njagala’, Myra ayongedde okulaga nti ddala ategeera ensonga z’omukwano.
Mu luyimba, agamba nti ‘wadde banvuma kwagala’, ng’akabonero akalaga nti mu bintu bya laavu, talina muzannyo.
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde ogwa 2021 mu Gwomukaaga, ebigambo byatambula nnyo ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Face Book nti Myra yali mu laavu n’omuyimbi wa BET omu yekka mu Uganda Eddy Kenzo.
Mu kiseera kino Kenzo talina mukyala amanyikiddwa oluvanyuma lwa Rema Namakula okumulekawo.
Kenzo yali yakazaala mu Rema omwana omu yekka kyokka mu kiseera kino Rema mukyala mufumbo, yafuna Dr. Hamzah Ssebunya era balina omwana kyokka Kenzo ekyanoonya.
Ebigambo byali biraga nti Kenzo afunye Bella Myra okudda mu bigere bya Rema.
Wabula waliwo abagamba nti Bella Myra okufulumya oluyimba ‘Njagala’ nga mulimu ebigambo ‘wadde banvuma kwagala’, ayinza okuba agezaako kulaga Kenzo nti ye mumalirivu okugenda mu bufumbo.
Audio!
Kenzo ayogedde – https://www.youtube.com/watch?v=ZZi3ix_gyMQ