Omuvubuka lwa yinki 9
Mu nsi y’okunoonya omukwano, omuntu okufuna omuntu omutuufu, sikyangu era ekyo, kivaako abantu okukola ebintu eby’enjawulo, olwa laavu.
W’osomera bino nga mu Nigeria, waliwo akatambi akali mu kutambula ku mikutu migatta abantu nga waliwo abawala abali mu kulwanira omuvubuka.
Mu katambi, abawala bombi bayizi kw’emu ku Yunivasite mu Nigeria kyokka buli omu alaga nti aludde mu laavu n’omuvubuka.
Mu lwanagana, omu ku bawala ali mu myaka 25, agamba nti ye, teri mukyala yenna ayinza kuzannyira ku musajja we.
Mu vidiyo, abantu wakati mu kusakaanya, abawala bataasiddwa naye nga buli omu alabula munne okwesonyiwa omusajja.
Omu ku bawala agamba nti abadde n’omulenzi emyaka egisukka 2 nga kiswaza mu kiseera kino ate omuwala omulala okwagala okusanyawo omukwano gwabwe.
Kigambibwa omuvubuka y’omu ku basuubuzi mu kibuga Abuja, abategeera okulya ssente, alabika bulungi era abawala okulwana, balina ensonga.
Mbu omuvubuka alina yinki 9 era y’emu ku nsonga lwaki buli muwala alaga nti simwetegefu kumwesonyiwa.
Wadde abawala bangi, baagala nnyo omusajja wa ssente kyokka singa afuna omusajja alina byombi ssente ate nga mulungi mu nsonga z’okusinda omukwano, ayinza n’okutta omuntu olwa laavu.
Ebirala ebifa mu nsi – https://www.youtube.com/watch?v=swbD5hycS4Q