Kyaddaki eyaliko Pulezidenti w’ekibiina kya Forum for Democratic Change (FDC), Dr Kizza Besigye, abikudde ekyama ekiyinza okuba nga kyaviriddeko okuttibwa kwa Ibrahim Abiriga abadde omubaka wa Arua mu Palamenti, eyakubiddwa ebyasi ebyamuttirawo, akawungeenzi k’olunnaku olwokutaano sabiti ewedde nga 8, June, 2018 ne muto we Saidi Congo era abadde omukuumi we.

Besigye eyakavuganya ku bukulembeze bw’eggwanga lino emirundi 4, agambye nti Abiriga, okuwagira ennyo enkyukakyuka mu sseemateeka w’eggwanga lino akawayiro 102B, okuggya ekkomo ku myaka gy’omuntu yenna, eyegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, eyinza okuba emu ku nsonga lwaki abantu banyiiga ne basalawo okumutta.

Ibrahim Abiriga
Ibrahim Abiriga

Mungeri y’emu agambye nti abantu bangi battiddwa kyoka ebitongole ebikuuma ddembe biremeddwa okufulumya alipoota, ekiyinza okuwa omukisa abantu abakyamu, okweyongera okutta abantu mu ggwanga lino.

Ku nsonga y’ebyokwerinda, Besigye agambye nti embeera eyongedde okubigya, ng’abantu bangi nnyo battiddwa omuli abakyala okuwambibwa, okubasobyako ne battibwa.

Bino okubyogera abadde ku mukutu ogwa BBC ng’asinzira mu ggwanga erya Bungereza, okutangaza ku ky’okutibwa kwa Abiriga.

Besigye era agambye nti, okutebenkeza ebyokwerinda bassentebbe b’ebyaalo bateekeddwa okulondebwa, okulwanyisa obuli bw’enguzi n’okuteekawo embeera etanyigirizza abantu okulonda abakulembeze babwe.

https://www.youtube.com/watch?v=jnPdPrszYY8