Poliisi mu Nigeria ekutte abantu 8 ku by’okufa kwa mutabani w’omuyimbi David Adedeji amanyikiddwa nga Davido.
Omutabani Ifeanyi Adeleke yafiiridde mu kidiba ekiwugirwamu ekimanyiddwa nga ‘swimming pool’ mu maka ga Davido ku kizinga Banana mu kibuga Lagos.
Kigambibwa omwana myaka 3 yagudde mu kidiba nga tewali muntu ayinza kumutaasa, olunnaku olw’eggulo ku Mmande era yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro.
Ifeanyi eyazaalibwa mu 2019 kigambibwa yakulungudde ebbanga ng’ali mu mazzi era okuzuulibwa okutwalibwa mu ddwaaliro mu bitundu bye Lekki, waliwo abagamba nti yabadde amaze okufa.
Ifeanyi yagudde mu mazzi ekiro ku Mmande nga wakayita ennaku mbale ng’abazadde bamutegekedde akabaga k’amazaalibwa ak’emyaka 3 nga 20, October, 2022.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu kibuga Lagos Benjamin Hundeyin, abantu 8 bakwatiddwa ku by’okufa kw’omwana.
Poliisi egamba nti omwana okufa, wabaddewo obulagajjavu nga y’emu ku nsonga lwaki 8, bakwatiddwa.
Mu kiseera kino Davido n’omukyala Chioma tebanavaamu wadde ekigambo ku by’okufa kw’omwana waabwe.